6 banyiga biwundu lwa kulumbibwa Mbogo .
Abantu 6 basigadde banyiga biwundu oluvannyuma lw’okulumbibwa embogo ebadde tesalikako musale ebalumbye okuva mu kkuumiro ly’ebisolo erya Kidepo Valley National Park erisangibwa mu disitulikiti ye Kaabong . Bano omukaaga balumbiddwa nga bagenda ku mirimu gyabwe ku kyalo Agoro mu ggombolola ye Oromo ku bbalaza ya sabbiiti eno . Innocent Kidega Nono omutuuze mu ka kabuga […]
Temukakaatika bakulembeze ku balonzi – President Museveni.
Pulezidenti Museveni alabudde abakulembeze ba NRM obuteekakaatika ku balonzi kubanga kino kibeetamisa okulonda. Museveni bino yabadde abikkaatiriza ku bakulembeze ba NRM abali mu Lusirika lwabwe e Kyankwanzi. Ayongera nti abantu balekebwe beelondere abantu bebaagala aba” batamiivu balonde batamiivu bannaanwe “. Pulezidenti agattako nti abakulembeze tebakoledde bantu ky’ova olaba nga ba Minisita bangi baawanguddwa mu kalulu. […]
Tewali asobola kutabangula Yuganda – Museveni .
Pulezidenti Museneni ne leero akizzzemu bw’abadde ku mikola gy’olunaku lw’abakyala e kololo nti tewali muntu n’omu asobola kutabangula Yuganda yakyogera era ne kati akizzeemu . Museveni abadde ku mikolo egy’okukuza olunaku lw’abakyala olw’ensi yonna nga emikolo emikulu gibumbujjidde mu kisaawe e Kololo olwa leero . Pulezidenti Museveni azeemu okukikkaatiriza nti tewali asobola kukyankalanya ggwanga lino […]
Lukululana esse basatu nga kuliko n’owemyaka 6.
Emiranga n’ebiwoobe bisaanikidde ekyalo Kibalinga ku luguudo oluva e Mubende okudda e Fort portal, lukululana ebadde edduka obuweewo bwetomedde abantu basatu nebafiirawo mbulaga. Abantu babadde basaabalira ku Boda Boda Omusajja omu ategeerekeseeko erya Paatu, omukyala omu n’omwana omu wa myaka 6, Lukululana ebadde etisse omwenge gwa Bbiya nga ebadde eva Kampala ng’edda Fort portal. Wabula […]
Police eyodde abasawo b’ekinnansi abafere.
Police e Mubende ekoze ekikwekweto mweyooledde abasaswo b’ekinnansi abafere nga n’abamu ku bo beyita ba Nabbi. Abasawo b’ekinnasinsi Police ebalese bafumbya miyagi bw’ebayoddemu abawera nga bafere , bagulika abantu nti bagenda kubawa obugagga ate oluvannyuma nebababba . Omu ku bo y’abadde yeyita Nabbi John eyagulika omusajja n’amuggyako obukadde munaana (8) ate n’atumuwa bugagga bw’ayagala . […]
Ofiisa w’akakiiko k’ebyokulonda akubiddwa amasasi agamuttiddewo.
Entiisa esaanikidde abantu mu Disitulikiti ye Lyantonde Ofiisa w’akakiiko k’ebyokulonda bw’akubiddwa amasasi abantu abatategeerekese agamuttiddewo . Vincent Ntegerize abadde omutuuze ku kyalo Kiwana mu gombolola ye Ntuusi mu Ssembabule y’akubiddwa amasasi bw’abadde ku kyalo ekimanyiddwa nga Mamba ekisangibwa mu disitulikiti ye Lyantonde . Eggulire lino litusakiddwa omusasi waffe Margret Kayondo e Masaka .
2 bakooneddwa Fuso ya kasooli, baddusiddwa e Mulago nga bataawa.
Abantu 2 baddusiddwa mu ddwaliro lye Mulago nga taasulewo taasiibewo y’ali ku mimwa gy’abantu oluvannyuma lw’okukoonebwa mmotoka kika kya Fuso ebadde yetisse kasooli wali ku nkulungo y’e Busega esooka ng’ova ku lw’e Mityana.
Amagye gaakuyambako police mu kalulu – ayogerera enkabi y’amagye – Kasijjagirwa.
Ayogerera enkabi y’amagye esangibwa e Kasijjagirwa Maj. Robert Kamala agumizza abantu mu zi disitulikiti ezetoolodde Masaka nti teri agenda kukuba bantu miggo, kino kivudde ku mpulubujju e zoogerwa nti waliwo abaserikale abagenda batiisatiisa abantu nti baggya kubakuba emiggo wabula amagye gagenda Kamala ayongerako nti teri muserikale akkirizibwa kwenyigira mu bya bufuzi okuggyako mu mbeera eno […]
Tewali nsonga ebaddusa kuva mu kibuga kudda mu byalo – IGP Kayihura.
Ssaabaduumizi wa police mu ggwanga General Kale Kayihura akakasizza bannayuganda nti tewali agenda kutaataaganya mirembe mu biseera by’okulonda era naakalaatira bannakampala nti tewali nsonga lwaki badduka okugenda mu byalo, awulira nti abantu baguze n’emmere okwetegekera embeera eddako. Kayihura agamba nti police ya bannansi era ekolagana n’abantu.