Kamunye ebadde edduka obuweewo esse babiri.
Kamunye ekola Taxie ekonye abantu babiri nebafa nga baakatuusibwa mu ddwaliro lye’ Mityana. Akabenje kano kagudde mu bitundu bye Nama mu disitulikiti ye Mityana ku luguudo olugenda e Mubende. Taxie namba UAY 597B ebadde eyisa lukulukana n’ekoona abantu babiri ababadde ku piki namba UDW 200D, nga badda Mubende, Paul Munyagwa abadde avuga ate ye omukyala […]
Enkola ya Federo yesinga okuganja – Ssaabasumba Lwanga .
Ssaabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala Dr. Cyprian Kizito Lwanga agamba nti enfuga ya Federo yeesinga okuganja mu Uganda kubanga erina empeereza ennungi eri abantu bonna ate era esembeza abantu okumpi n’abakulembeze baawe . Bino Ssaabasumba yabyogeredde ku mukolo nga Ssaabasajja Kabaka aggalawo ekisaakaate kya Nnaabagereka ekiyiindide essaabiiti bbiri ku ssomero lya St. Juliana e Gayaza […]
Babiri bafiiriddewo mu kikwekweto kya police, omu muserikale.
Abantu 2 bakakasiddwa nti bafiiriddewo mu kavuvungano nga police ewandagaza ebyasi eri abantu abateeberezebwa okuba abamenyi b’amateeka nga babadde n’emigemera wala. Bino bibadde ku kyalo Mulungiomu mu gomboloka ye Kikyusa mu disitulikiti ye Luweero. Omu ku bafudde abadde muserikale wa police nga ye Sargent Odongo Ronald nga muserikale munne y’amukubye ebyasi, ate omuvubuka omulala afudde […]
Okuzaalibwa kwa Yesu kristu kuleeta mirembe mu Uganda – Ssaabalabirizi Nkoyooyo.
Ssaabalabirizi eyawummula egy’obulabirizi Mpalanyi Nkoyooyo mu bubaka bwe obwa amazaalibwa ga Yesu kristu agamba nti amazaalibwa galeeta mirembe eri Uganda ne Bannayuganda bonna. Ssaabalabirizi ayongeddeko abantu bonna babeere bakkakkamu, baagalizaganye emirembe. Bw’atyo n’ayagaliza abantu ba Katonda ennaku enkulu ennungi ezijjudde emirembe.
Police ezinzeeko amaka ga Mbabazi, eyodde 25.
Police ezinzeeko amaka ga eyeesimbyewo ku bwa pulezidenti mu kalulu ka 2016, John Patrick Amama Mbabazi agasangibwa e Kololo ne Nakasero era n’eyoola abantu abakunukiriza mu 25 ate n’ebyuma bikali magezi ebibadde mu office ya Mbabazi n’egenda nabyo. Ensonga ezikwasizza abantu bano tezinnategeerekeka.
Ekyalo Okwattiddwa abantu 5 kiri ku bunkenke.
Embeera yeeyongedde okuba ku bwerende ku kyalo Kisagazi mu ggombolola ye Lwamata mu disitulikiti ye Kiboga Okwattiddwa abantu 5. Olunaku lweggulo abatuuze baatirimbudde abasajja bataano bebaabadde bateebereza okuba abaguzi b’ettaka. Abantu baabadde ne ssentebe w’ekyalo nga bateesa era abatuuze olwabalabuukiridde ne baggyayo amajambiya nebabatema ate n’emmotoka zaabwe nebazikumako omuliro. Kati wetwogerera nga police eyiye abawanvu […]
Amataba gasengudde abantu abali mu 700.
Embeera ya kiyongobero na nnyiike eri abantu mu bitundu bye Alere, Abacha n’ebintu ebyetooloddewo mu bitundu bye Teso, amataba gasengudde abantu abasoba mu 700 nga kati tebalina bubudamo. Abangi ku bo beewogomye ku Ggombolola, ebirime byonna amataba gaabitutte, ebisolo, enkoko ate nga n’amayumba gali ku ttaka n’olwekyo bawanjagidde Gavumenti ebayambe.
Paapa asiibudde bannayuganda .
Omutukuvu Paapa Francis enkya ya leero asiibudde bannayuganda abakedde okubembekera ku makubo okumusiibula ku bugenyi obw’ennaku 2 z’amaze mu Yuganda . Oluguudo lw’ e Ntebe lubooze abantu , Essanyi libabugaanye abantu ababadde ku kisaawe e Ntebe nga Paapa asiibula Paapa mu kusiibula awerekeddwako Pulezidenti Museveni wamu ne Janet Museveni . Kati Paapa Francis ayolekedde Central […]
47 baakwaniriza Paapa.
Akalimi k’essaawa kanaaba kayingira 04:45 ez’akawuungeezi leero ku kisaawe e Ntebe, ng’omutukuvu Paapa Francis alinnya ku ttaka lya Uganda. Omutukuvu Paapa waakwanirizibwa abantu abali mu 47 nga bakulembeddwamu Museveni. Paapa Francis atambudde n’abantu 100, omuli Abakungu okuva e Vatican ne Bannamawulire 70. Mu balala abagenda okwaniriza Paapa a bakulembeddwamu Museveni mulimu Speaker wa Palamenti, Ssaabalamuzi, […]