Enkumbi tezikyakola ku mulembe guno – Abed Bwanika.

Owa 39 amasannyalaze gamusse.

Ekikangabwa kibuutikidde abatuuze ku kyalo Businge mu Disitulikiti ye Manafwa, omukyala wa myaka 39 bw’akubiddwa amasannyalaze negamuttirawo. Namukonde Rose abadde atwala yo embuzi ze ku ttale, abadde ayitidde mu nsiko ya mulirwana bw’atyo n’alinnya ku wire y’amasannyalaze negamukuba. Kiteeberezeddwa nti omusajja ono mulirwana w’omugenzi abadde abba amasannyalaze era kati wetwogerera nga police emukutte atemeza mabega […]

Abaagobwa ku ttaka bagumbye ku kooti enkulu.

Abantu abasoba mu 400 enkya ya leero bagumbye ku kooti enkulu mu Kampala okuleeta Okwemulugunya olwa Gavumenti okulwawo okubaliyirira. Abantu bano baagobwa ku ttaka mu kibira kye Mpokya mu Disitulikiti ye Kibaale mu 1992 nga kati wayise emyaka egisoba mu 20 nga tebasasulwa. Abantu bano bagamba nti babanja   Gavumenti ssente ezisoba mu buwumbi 12.

Goonya eridde omwana mu Disitulikiti ye Buyende.

Enkyukwe ebuutikidde abantu mu Ggombolola ye Namugundu goonya bweridde omwana. Omwana ono abadde agenze ne banne okwoza engoye wabula goonya n’emusooberera n’emurya. Ono omwana kati yaaawezazza abantu omusanvu goonya beyaakalya.

16 bakwatiddwa lwa kutta muntu.

Abantu 16 Police ebagombyemu obwala lwa kutta muntu. Mu Disitulikiti ye Luweero mu Ggombolola ye Butuntumula ku kyalo kyawangabi, abantu bano omuli n’omukyala gyebaakolera ekivve Kino nga Kalungi Ibrahim yeyakubwa wabula oluvannyuma n’afiira mu ddwaliro e Mulago. Omwogezi wa police mu Savanah Region Lameck Kigozi agamba nti okunoonyereza kulaga nti olukwe lw’okutta Kalungi lwali luluke […]

Tumuhimbise atwaliddwa mu ddwaliro nga embeera ye ssi nnungi.

Omukwanaganya w’emirimu mu kibiina kya Youth Brotherhood, Norman Tumuhimbise atwaliddwa mu ddwaliro nga embeera ye tewoomya Nakabululu oluvannyuma lw’okukomezebwawo n’asuulibwa okuliraana amaka ge awo e Kasubi. Kinnajjukirwa nti Tumuhimbise yali yabuzibwawo abantu abataategeerekeka okumala e sabbiiti nnamba, wabula eggulo abantu be omwabadde ne Mukyala we ne beecwacwana ne balumba Police olunaku lw’eggulo. . Wabula bugenze […]

Emitwe gy’emirambo 2 giremedde mu Ggwanika lya KCCA.

Abakulira eggwanika lya KCCA ery’e Mulago bagamba nti Batuubagidde n’emitwe ebiri egy’emirambo. Emirambo gino gyegyabamu ku bantu abafiira mu Bbomu ezaakuba abantu e Lugogo ne Kabalagala . Detective AIP Charles Aruma agamba nti emirambo gy’abantu 73 gyatwalibwa naye gino ebiri gyasigala. Emitwe gino giraga nti bano baali basajja ate nga bafirika.

Obungi bw’abantu mu Uganda buvudde ku Butebenkevu, eddembe, ebyobulamu – Pulezidenti Museveni.

Pulezidenti Museveni agambye nti Obungi bw’abantu mu Uganda buvudde ku Butebenkevu, eddembe n’ebyobulamu ebirungi ebiri mu ggwanga. Pulezidenti bino abyogeredde ku mukolo gyokukuza olunaku lw’obungi bw’abantu mu nsi yonna, ogubadde e Ssembabule.

Abantu 44 bakubiddwa Bbomu e Nigeria nebafiirawo

Kikangabwa e Nigeria, abantu 44 bakubiddwa Bbomu era nebafiirawo. Abantu bano abamu babadde mu kirabo kya mmere ate abalala mu muzikiti.

Akabenje ddekabusa omufiiridde abantu abasoba mu 15. Kitalo

Kitalo nnyo, Akabenje ddekabusa omufiiridde abantu abasoba mu 15 ku luguudo lw’e Masaka okuliraana Katende. Akabenje kano keetabiddwamu emmotoka ezisoba mu 6 wabula abantu abalala baddusiddwa mu ddwaliro.