120 bafudde ebbugumu
Abantu 120 mu gwanga lya Pakistan bafudde ebbugumu mu Cind Province, era nga ekimu ku bireese kino bbula lya masannyalaze. Kino kifaananye ekyakabaawo ku muliraano e Buyindi abantu 1700 baafa era mu mbeera y’emu mu mwezi oguwedde.
Omukago gw’abebibiina tegusobola kukola
Omubaka omukyala owa Kampala Nabila Nagayi Ssempala, agamba nti omukago gw’abebibiina tegusobola kubaako kyegukola, Nti abantu ab’olubatu basalirawo batya abangi mu kukola omuakago, Era Nagayi ayongerako nti takkiriziganya na ngeri kalulu ka FDC gyekakubwamu, nti kaalimu okugulirira abalonzi , okusuubiza abantu amasimu, okutambuza abalonzi gattako n’okumetta enziro.
Police eyodde 24.
Police erumye n’ogwengulu, okusobola okukwata abantu 24, abateeberezebwa okutigomya banna Kampala mu bubbi gattako obutemu omwaviira abantu 07 okufa.