Balam asazizaamu okusondera Chandiru ssente
#Wolokoso: Barugahara Balaam Ateenyi avuddeyo nasazaamu okusondera Jackie Chandiru.ssente oluvannyuma lw’aboluganda lwe okuvaayo bebategeeza nti bagenda kumusasulira. Balam avuddeyo neyebaa abantu bonna ababadde bavuddeyo okudduukirira Chandiru. Ab’oluganda lwe bagamba nti bafunye omuntu wa Family agenda okusasula ebisale by’eddwaliro. Bwatyo Balam alagidde Pastor Wilson Bugembe okuddiza abantu ssente zaabwe ze babadde basonze. Pastor Bugembe agamba nti […]
Kitalo! Abantu 9 bafiiridde mu kabenje e Jinja
Kitalo! Abantu 9 bakakasiddwa nti baffiireddewo mbulaga mu kabenje akagudde ku kyalo Nawantumbi ekisangibwa mu Gombolola y’e Nawanyago ku luguudo oluva e Jinja okudda e Kamuli. Moses Lyagoba akulira ebyobulamu mu Distulikiti ye Kamuli agamba nti Taxi nnamba UAZ 861Q ebadde eva e Jinja nga eri ku misindi miyiritirivu, eremeredde omugoba waayo, netomera owa boda […]
Banna Kyaggwe ne Bulemeezi bakubiriziddwa okufuna ebiwandiiko ku ttaka kwebabeera
Bino byogeddwa Minisita w’ettaka, obulimi, n’obutonde bwensi, Owek Hajji Mariam Mayanja Nkalubo, bwabadde atikkula Amakula agaleeteddwa abantu ba Kabaka okuva mu gombolola ya Ssabawaali Buikwe e Kyaggwe ne Mutuba IV Makulubita e Bulemeezi. Mu bubaka bwabatisse, Owek Mariam abakubirizza okusasula obusuulu kibasobozese okufuna ebiwandiiko ebibakakasa nti batuuze ku ttaka. Abaami baamagombolola abakulembeddemu abantu ba Kabaka, […]
Kitalo! Abantu 7 bafiiridde mu kabenje e Nakasongola
Kitalo! Abantu 7 bafiriidde mu kabenje n’abalala 11 nebalumizibwa byansusso mu kabenje ka bbaasi akagudde e Namayonjo mu Disitulikiti y’e Nakasongola mu kiro ekikeesezza olwaleero. Okusinziira ku mwogezi wa Traffic Charles Ssembambulidde agamba nti bbaasi nnamba UAQ 643W eya kkampuni ya Roblyn Coaches etomedde loole ebadde ku mabbali g’ekubo nnamba UAX 001Y. Bbaasi ebadde eyolekera […]
Abatta abantu mbizzi – Pulezidenti Museveni
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Nga bwenabagamba nti abo bonna abatta abantu Mbizzi, nkikaatiriza nti omuntu yenna atta abantu nga si lutalo mbizzi. Ekisinga obukulu bano bonna basiru. Berabira nti buli musango oguzzibea gulekawo obujjulizi obusobola okutandikirwako nebakwatibwa. Ku kutibwa kwa Kaweesi, Kiggundu ne Abiriga, ab’ebyokwerinda balagayamu. Mujjukira bulungi oluvannyuma lw’obutemu buno, nalaga Palamenti ensonga 10 […]
Aba Middle East Consultants bavunaaniddwa
Abantu babiri okuva mu kitongole ekifunira abantu emirimu w’eggwanga ekya East Consultants bafunaaniddwa omusango gw’okukukusa abantu mu kkooti y’omulamuzi Entebe. Godfrey Kyalimpa ne Benon Kunywana bebasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Fiona Birungi ku misango 4 okuli okukusa Bannayuganda 50 wamu n’okukozesa ebiwandiiko ebijingirire.
Banna Buddu ne Kyaggwe bakiise embuga mu nkola ya Luwalo Lwaffe.
Amagombolola okuva mu Ssaza lye Buddu ne Kyaggwe, galeese oluwalo okuwagira emirimu gy’obwakabaka. Agaleese gegano; Buddu Mutuba VIII Kasaali 1.350.000 Mutuba VII Lwengo 2,125,000 Mutuba V Kakuuto 1,600,000 Mutuba IX Kabira 1,560,000 Mutuba XVII Nabigasa 550,000 Kyaggwe Musaale Nagojje 1,250,000 Buikwe District Disability Co-operative and Credit savings Union. 500,000/ Omugatte: 8,911,000 Bwabadde abatikkula, Omumyuka wa […]
Kitalo! bataano bafiiridde mu kabenje ku lw’e Masaka
Kitalo! Abantu 5 bebafiiridde mu kabenje e Kabuye – Kyabadaaza ku luguudo lw’e Masaka mu Disitulikiti y’e Mpigi ekiro kyajjo bbaasi ya Kkampuni ya Global eyabadde edda e Mbarara bweyatomereganye bwenyi ku bwenyi ne Taxi eyabadde eva e Masaka. Kigambibwa nti bbaasi UAZ 581U, yebadde egezaako okuyisa loole mu lane gyezirinyira olusozi netomeregana ne Takisi […]
Poliisi ekutte abbira ku byuuma bya ATM
Poliisi y’e Matugga ekutte omusajja abadde yegulidde erinnya mu kubbira abantu ku byuuma bya ATM. Atukwasa Julius nga mutuuze mu Ttawuni y’e Kitagata mu Disitulikiti y’e Sheema yeyakwatiddwa ku kyuuma kya ATM e Matugga nga yefudde amuyambako okuggyayo ssente kumbe nga ayagala kumubba. Omukyala ono yabadde mugezi namwekegera olw’ebikolwa bye bwatyo nakuba enduulu eyasombodde abantu […]