Eby’obuggagga bya KCCA 103 byatundibwa
Akola nga Executive Director w’ekitongole ekivunaanyizibwa ku kibuga Kampala ekya Kampala Capital City Authority Eng. Andrew Kitaka avuddeyo nategeeza nti eby’obuggagga by’ekitongole kino ebiwerera ddala 103 byatundibwa abantu abatamanyiddwa. Kitegeerekese nti eby’obuggagga bino byali byawabwe abantu ku ‘lease’ wabula kyababuuseeko ng’ekitongole okukitegeerako nti ate oluvannyuma byaguzibwa abantu abo nebifuuka byabwannannyini. Agamba nti awagira okunoonyereza kukolebwa […]
Obwakabaka bwakussaawo enkolagana ne minisitule y’ebyobulamu eya Gavumenti ya wakati.
Ekigendererwa Kya kutumbula bya bulamu mu bantu ba Uganda. Mu lukungaana olw’enteeseganya olutudde olwa leero ku Bulange wakati w’obwakabaka n’abakungu ba minisitule y’ebyobulamu mu Gavumenti ya wakati nga bakulembeddwamu Dr. Diana Atwine, Katikkiro Charles Peter Mayiga agambye nti abantu beetaaga okufuna obubaka obukwata ku nsonga zebyobulamu, ate era twagala abantu babeere balamu, kitwetaagaisa okukolagana ne […]
ISO ekutte emotoka 5 enzibe
Ekitongole kya Internal Security Organization – ISO nga kiri wamu n’eggye lya Uganda Peoples Defense Forces – UPDF byavuddeyo nebikola ekikwekweto mu ttawuni y’e Lira ne Soroti okuyigga ababbi b’emotoka. Kino kyaddiridde abantu okwemulugunya ku bubbi bw’emotoka obususse mu bitundu ebyo. Mu kikwekweto kino bazuuliddemu emotoka 5 enzibe nga kuliko; Toyata Premio UAT 702E (grey) […]
Poliisi ekutte omusumba w’abalokole anywesa abantu eddagala ly’obutwa
Poliisi mu Rwenzori West ekutte abantu nebatwala mu Kkooti ku byekuusa kitongole ekyeyita eky’obwannakyeewa ekya Global Healing Christian Missions nga kino kibadde kigabira Abalokole mu Disitulikiti okuli Kyenjojo ne Kabarole eddagala ery’ebyewuunyo ‘Miracle Cure’ nga bagamba nti liwonya Cancer, Siriimu, omusujja n’endwadde endala nnyingi nnyo. Ekitongole kino kibadde kiteekebwamu ensimbi Munnansi wa Bungereza Sam Little […]
Abantu 8 bafiiridde mu kabenje e Mbale
Kitalo! Kigambibwa nti abantu 8 bafiiridde mu kabenje takisi nnamba UBD 584R ng’ebadde ewenyuuka obuweewo nga eva Mbale okudda e Soroti egudde neyefuula nettirawo abantu 2 ate abalala 6 nebafiira mu ddwaliro.
Ekidyeeri ky’e kayunga bayimirizza entambula zaakyo
Ekidyeeri ekibadde kisaabaza abantu okuva e Kayunga okudda e Kamuli ekya Mbulamuti bayimirizza eŋŋendo zaakyo okumala ebbanga eritanategerwa. Ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’enguudo mu ggwanga ekya Uganda National Roads Authority kitegeezezza nti ku lunaku l’wokubiri loole bweyali eva ku kidyeeri kino yamenya ebimu ku bintu ebikiyamba obutabbira. Aba UNRA basabye abantu bonna ababadde bakozesa ekidyeeri kino […]
Mukomye okusaanyawo obutonde bw’ensi – Kattikiro
Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abantu bonna mu Buganda okusitukiramu okulwanyisa ekikolwa ekyokusanyaawo obutonde bwensi ekikutte ejjembe mu ggwanga nga kino kiviuriddeko embeera y’obudde okutabanguka . Katikkiro okwogera bino abadde mu bumuli bye bulange e Mengo amagombolola agenjawulo okuva mu masaza okubadde Buddu ,Busujju bwegakiise embuga mu nkola ya Luwalo lwaffe nga gano […]
Poliisi ya CPS ekutte abadde atigomya abantu mu Kampala
Poliisi ya CPS mu Kampala ekutte omubbi omusajja agambibwa okubeera omubbi ng’abadde atigomya abantu abakeera mu Kampala nga abateega ku Barton Street ne Nakivubo Channel. Ono ategeerekeseeko erya Arafat asangiddwa n’ejjambiya gyeyasala gyakozesa okubba abantu. Ono akuumirwa ku Poliisi ya CPS.
Pulezidenti Museveni alambudde Busoga
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni olunaku lw’eggulo yalumazeeko atalaaga Kaliro mu Busoga gyeyakubye olukungaana ku kyalo Nawaikoke nasomesa abantu engeri gyebayinza okwegobako obwavu. Yakubirizza abantu abalina ettaka ettono obuteesiba mukulima bikajjo wabula okulima ebintu ebirala ebivaamu ensimbi amangu.