Bobi Wine atanateesa mirundi 5 mu Palamenti nti naye ayagala bwa Pulezidenti – Hon. Ogwanga
Omubaka akiikirira Usuk County mu Disitulikiti y’e Katakwi Peter Ogwanga (National Resistance Movement – NRM) bweyabadde ku Pulogulaamu ya Cedric Live Show yavuddeyo nalumba omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine; “Ababaka abamu befuula ba kafulu ku bintu ebimu, kyova olaba nti nabamu tanaweza namirundi 5 ng’ateesa mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga naye […]
Katikkiro atikkudde abantu ba Kabaka okuva mu magombolola ge Kyaggwe, Ssingo, n’amasomero g’omu Busujju oluwalo oluweredde ddala obukadde 47.
Luwalo Lwaffe Katikkiro atikkudde abantu ba Kabaka okuva mu magombolola ge Kyaggwe, Ssingo, n’amasomero g’omu Busujju oluwalo oluweredde ddala obukadde 47. Amagombolola gakulembeddwamu abaami ba Kabaka nga bali wamu ne bannabyabufuzi okuva mu bitundu byebatwala. Mu kwogerako gyebali, Katikkiro enteekateeka obwakabaka zebuliko tezisobola kugenda mu maaso nga mu nsi temuli butebenkevu. Kino kyeyolekedde mu alipoota […]
Obwakabaka butaddewo enkolagana n’ekitongole Kya CIDI okwongera okutumbula okusimba emiti mu bitundu bya Buganda.
Minisita omubeezi ow’eby’obulimi, Hajji Amis Kakomo yataddeko omukono kulw’obwakaba. Mu ngeri yeemu obwakabaka bunywezezza enkolagana yabwo n’ekitongole kya EBAFOSA ekikubiriza abantu okwettanira okulima muwogo. Patrick Luganda ku ludda lwa EBAFOSA yataddeko omukono ate Owek Hajji Amis Kakomo naateekako kulw’obwakaba. Omumyuka wa Katikkiro asooka era Minisita w’eby’emirimu n’obuyiya, Prof. Twaha Kigongo Kaawaase abaddewo nga omujulizi mu […]
Poliisi ekutte abafere 4
Poliisi mu Kampala ekutte abantu 4 lwakufera Bannayuganda nga babagamba nti balina obusobozi obukuba ssente. Patrick Onyango ayogerera mu Kampala n’emiriraano nga bano kuliko; David Wambuzi, Gordon Kavuma, Leila Malika ne Alice. Kigambibwa nti bano balina bafere abantu obukadde 30 nga babalimbye okubaguza ekyuuma ekikuba ssente.
Abantu 3 abalina Ebola batolose mu ddwaliro
Abantu 3 abateeberezebwa okubeera n’obulwadde bwa Ebola bebagambibwa okuba nga batolose w’ebakuumira abantu abalina ekirwadde kya Ebola ku ddwaliro lya Kihihi Health Centre IV mu ttawuni y’e Kihihi mu Disitulikiti y’e Kanungu. Saddi Muhima, 46, ne mutabani we Issa Muhima, 19 ne Milton Nsenga, bonna nga Bannansi ba Democratic Republic of Congo (DRC) bebabadde bateekeddwa […]
Abe Busiro babanguddwa ku by’ettaka n’obutonde bwensi
Abantu ba Ssaabasajja Kabaka ab’omu gombolola ya Ssaabaddu Katabi, mu Ssaza lye Busiro, babanguddwa mu musomo gw’okukuuma obutonde bwensi, ettaka, n’enzimba y’ennyumba ey’abantu abatasobola kwetengerera nga bayita mu nkola ya Bulungibwansi. Omusomo gubadde ku ssomero lya Bulega Church of Uganda primary school e bulega nalugala. Minisita w’ettaka, obulimi, obutonde bwensi, obwegassi, ne Bulungibwansi, Owek Hajjat […]
Abasajja mubeere babuvunaanyizibwa – Brig. Kulaigye
Omubaka akiikirira amaggye mu Lukiiko lw’Eggwanga olukulu Brig. Felix Kulaigye agugumbudde abasajja abesuuliddeyo ogwanagamba kumaka ga abwe nagamba nti bano abasajja balinga embata ensajja. Okwogera bino abadde Masaka ku mukolo RDC w’e Masaka Herman Ssentongo gweyategese nga yebaza Katonda olwa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni okuddamu namuwa obwa RDC nga omukolo guno gubadde mu Liberation Square […]
Ab’e Bududa basenguddwa
Abantu abakosebwa okubumbulukuka kw’ettaka mu Disitulikiti y’e Bududa batandise okusengulwa nga batwalibwa mu Disitulikiti y’e Bulambuli mu gombolola y’e Bunambutye. Amaka agasoba mu 50 gegagenda okusooka okusengulwa okuva mu kitundu ekisooka. Julius Mucunguzi akulira ebyamawulire okuva mu offiisi ya Ssaabaminisita yategeezezza nti abantu 720 okuva mu maka 98 bebagenda okusengulwa baweebwe emmere okumala omwaka mulamba […]
Kitalo! Basatu bafiiridde mu kabenje e Kyotera
Kitalo! Abantu 3 bafiiridde mu kabenje e Kyotera oluvannyuma lw’emotoka ekika kya Canter nga njeru UBD 074M okuwaba neyesolossa ekitoogo nettirawo abantu basatu abagibaddemu. Akabenje kano kagudde ku kyalo Jongoza e Kaliisizo mu Disitulikiti y’e Kyotera ku ssaawa nga kumi neemu. Emirambo gyabwe gyagiddwa mu kitoogo emotoka gyeyagudde. Abafudde kuliko Kibuule Elias 30, ow’e Kakunyu […]