Kitalo! Abantu 30 bafiiridde mu nnyanja Muttanzige

Kitalo! Abantu abawerako bafiiridde mu nnyanja Muttanzige

Kitalo! Abantu abawerako bebalowoozebwa okuba nga bafiiridde mu nnyanja Muttanzige eryato kwebabadde basaabalira bweryabidde. Kigambibwa nti eryato lino lyabadde litisse abantu 45 nga kuliko ne ttiimu y’omupiira wamu n’abawagizi baabwe nga baabadde bagenda ku mupiira. Emirambo gy’abo abafudde egyakasuulibwako kuliko Majid Mayaya, Winnie Ayera ne Omirambe, nga bonna batuuze ba kukizinga e Fofo mu Tonya […]

Aidah Nantaba yeebazizza Mukama okumutaasa abatemu

Hon. Aidah Nantaba Erios, Omubeezi wa Minisita owa ICT era nga ye Mubaka omukyala owa Disitulikiti y’e Kayunga olunaku lw’eggulo yategese okusaba okwebaza Mukama okumutaasa abatemu. Okusaba kuno kwabadde ku Kkanisa ya Seventh Day Adventist e Bukolooto mu Kayunga Town Council nga kwakulembeddwamu Omusumba Dr. Moses Makka okuva mu Bugema University. Omusumba Dr Moses Makka, […]

Poliisi e Masaka ekutte abazigu 5

Poliisi e Masaka ekutte abantu 5 nezuula n’emmundu ekika kya AK-47 ebadde ekozesebwa okuyingannya abantu mu bitundu by’e Masaka. Abakwate bakuumirwa ku Poliisi y’e Masaka. Bano babadde bakozesa emmundu okubba abantu b’e Masaka wamu n’okutta abantu. Okusinziira ku Harman Ssentongo Omubaka wa Pulezidenti e Masaka agamba nti emmundu eno ebadde etataganyizza nnyo eby’okwerinda mu kitundu […]

Ebyava mu misinde gy’amazaalibwa ga Kabaka byanjuddwa.

Abaddusi baali emitwaalo 50,000 Ensimbi obukadde 494,200,000 zezavaamu. Obukadde 200 bugenda kuwebwayo eri aba central Health Laboratories e butabika busobole okugula ebyuma ebikozebwa mu kukebera obulwadde bwa Nalubiri. Ate obukadde 294,200,000 bugenda kukozesebwa okwongera okubunyisa enjiri ekwata ku bulwadde bwa Nalubiri. Bwabadde ayanjula enteekateeka eno eri bannamawulire, omumyuka wa Katikkiro ow’okubiri era Minisita w’eby’ensimbi, Robert […]

Enkola y’okusimba emiti n’okukola Bulungibwansi mu Busiro etongozeddwa.

Enkola eno etongozeddwa omwami omwami w’essaza Busiro Charles Kiberu Kisiriiza mu Gombolola ya Mutuba V Entebbe. Abantu ba Kabaka basoose kukola Bulungibwansi okuva mu town ye Lugonjo okutuuka ku mwalo e Nakiwogo era Kaweefube ono atwaliddemu n’akatale ke Nakiwogo era yenyigiddwamu abantu ab’enjawulo omuli n’abaana b’amasomero. Kaweefube w’okukola Bulungibwansi awoomeddwamu omutwe omwami w’egombolola Mutuba V […]

15 Best and Most Breathtaking Cityscapes

Lorem ipsum dolor sit amet, consectetur adipiscing elit. Morbi sagittis, sem quis lacinia faucibus, orci ipsum gravida tortor, vel interdum mi sapien ut justo. Nulla varius consequat magna, id molestie ipsum volutpat quis. Suspendisse consectetur fringilla suctus. Nulla varius consequat magna Morbi sagittis, sem quis lacinia faucibus, orci ipsum gravida tortor, vel interdum mi sapien […]

Poliisi mu Kampala ekutte 331

  Poliisi mu kutuukiriza ekiragiro kya President Museveni nga eyita mu kikwekweto kyetuumye ‘Tokoora Operation’ ekutte abantu abasoba mu 331 nga bano kigambibwa benyigira mu kubba Bannakampala mu bitundu bya Kampala n’emiriraano. Bano bakwatiddwa mu bitundu omuli; Kisenyi, Nakivubo, Makindye, Kawala, Kibuli, Kibuye, Salaama, Katwe ne Kasubi. Ab’ebitongole bebyokwerinda bazudde ebintu eby’enjawulo ebyeyambisibwa abantu bano […]

Ab’ebijambiya batemye 4 e Lwengo

Ab’ebijambiya bazzeemu okutema abantu e Lwengo. Bano balumbye ekyalo Kantungamye mu Gombolola y’e kingo mu disitulikiti ye Lwengo ne batema abantu 4 omu n’afirawo 3 ne babaleka nga bataawa. Ettemu lino libaddewo mu kiro ekyakeeseza olwa Sunday era nga muzeeyi Atanansi Kamulegeya 60 tasobodde kusimatuka bijjambiya ebyamutemeddwa ku mutwe, amaggulu, n’emikono. Abalala abatemeddwa kuliko Ronald […]

Poliisi ezudde emotoka 20 enzibe

Poliisi ekutte abantu 16 nezuula n’emotoka 20 ne Piki piki 2 ezabbibwa nga abantu beteekerateekera ebikkujuko bya Ssekukulu. Zino zezimu ku motoka ezibbibwa mu bitundu eby’enjawulo nezitwalibwa e Mbale, Busia ne Kenya. Ekikwekweto kyakoleddwa mu bitundu bye Iganga, Mbale, Ebuvanjuba wamu ne mu Kampala. E Mbale Poliisi yazuddeyo emotoka 6 era nekwata yo abantu 4, […]