Amasabo getaaga kwokya – Mutabazi

UPDF tekuba bantu – Col. Egola

Col. Charles Okello Egola bweyabadde alabiseeko mu kakiiko k’ebyokwerinda ku nsonga za UPDF okukozesa obukambwe obususse ku bantu, yagambye nti omuntu oba abantu abaali bakutte emiggo nga bakuba abantu baali bajaasi bansi ndala okuva mu buggwanjuba bwa Africa, tebaali Bannayuganda. Mbu ebifaananyi byali biyiiye. Mbu UPDF tesobola kukola bikolwa nga ebyo.

Basatu bafiiriddewo e Pakwach

Poliisi wamu nebalubbira bakyalwana bwezizingirire okunyulula abantu abagudde mu mugga Nile mu District y’e Pakwach emotoka ekika kya Canter kwebabadde batambulira okugenda mu katale bwegaanye okusiba neyesolossa mu mugga Nile. Abantu 3 bafiiriddewo era emirambo gyabe negizuulwa ate n’abalala 12 nebataasibwa. Omuyiggo gw’abalala gukyagenda mu maaso.

Tetujja kukiriza ffujjo kutataganya Uganda – HE. Museveni

President Museveni avuddeyo naddamu ebbaluwa ya Speaker ku nsonga yabebyokwerinda okutulugunya ababaka, agambye bwati; Nga bwokimanyi nti nakyalako mu Arua era nenoonyeza ne Nusur Tiperu akalulu ku lunaku olwasembayo nali nva ku rally nensisinkana aba Opposition nga bakulembeddwa Hon. Robert Kyagulanyi Bobi Wine nga balina grader oba baali baagala kuginkiika naye tuba twakagiyisa nempulira ebintu […]

Kkampuni efeze abantu obukadde 812 neggalawo

Poliisi y’e Katwe ekutte Simon Musinguzi ne Daniel Kalyango lwakufera abantu abasoba mu 38 nga babagamba nti bagenda kufuna amagoba. Kigambibwa nti batandika Kkampuni ya Adsan Enterprises nga Kkampuni etunda obukoko obw’okulunda ku bbeeyi entono nga babasuubiza n’obutale nga obukoko bukuze. Bano balimba abantu nti bafuna contract z’okuwa amakkampuni ag’enjawulo nga bagawa emmere enkalu wamu […]

Bambala ebimyufu okulaga nti bajja kuyiwa omusaayi – H.E Museveni

Ekibinja kino ekikola effujjo kyambala ebimyufu ekitegeeza nti betegefu okuyiwa omusaayi, ate nga ebiseera ebimu babadde bambala enkofiira za millitary okulaga nti bakozesa enkola za millitary, naye okutiisatiisa kuno tukwesonyiye ebbanga lyonna. Wabula tetujja kubakiriza kutiisatiisa Bannayuganda nga bakozesa ebigambo oba okubakuba nga bakozesa amayinja, ebiso, obwambwe oba emmundu. Okusobya ku bakazi olw’okuba bawagira NRM […]

Ekyali mu Arua kuba Opposition kibeere eky’okuyiga – H.E Museveni

Abo bonna abefuula nti bawagira Opposition babuza abantu bwebalemwa okubawabula okukomya okutiisatiisa wamu n’okukuba Bannayuganda. Bannayuganda betukulembera bajja kubawakanya era babalwanise. Amaanyi twakozesa matono nnyo mu Arua okugumbulula wamu n’okukwata abakozi b’effujjo betwasuubira nti bakuba abantu wamu n’okubatiisatiisa nga bwekyali e Jinja ne Bugiri kibeera ekyokuyiga eri abo abasuubira nti banakozesa obukodyo nga buno.

Ab’eggye erinkuuma baali bantu balamu nnyo obutakuba masasi – H.E Museveni

Lwaki tetuwulirangayo wantu wonna nga abawagizi ba NRM balumbye abawagizi b’oludda oluvuganya Gavumenti? Mujjukira abantu nga Bobi Wine bwe balumba ababaka abalala mu Palamenti? Kati mwagala tubakirize balumbe abantu babulijjo? Ate ekyokusomooza aba Poliisi oba Abamaggye? Mujjukira omusirikale wa Poliisi Ariong eyakubwa ejjinja n’afa? Musaana mwebaze abasirikale olw’okuwonya Bannayuganda okuttibwa wadde nga tebalina teargas. Basobola […]

Bobi Wine ne banne bakuba batya Bannayuganda – H.E Museveni

Bobi Wine yani oba omuntu omulala yenna akuba abantu era nga abakubira ki? Mulabe Video ze Bugiri ne Jinja, ebyo bye birina okubaawo mu Uganda era lwaki? Singa amaggye tegabiyingiramu mu Arua, abantu bangi balibadde battibwa ekibinja kya Bobi Wine. Baalina amayinja, obwambe mbu baalina n’emmundu. – President Museveni.

Mwewale okukola effujjo – IGP Ochola

IGP Martin Okoth Ochola avuddeyo kubyabaddewo e Mityana; Poliisi ya Uganda enyolerwa wamu n’abenyumba y’omugenzi Samuel Ssekiziyivu, nabwekityo tutandise kunoonyereza ku basirikale abakubye abantu amasasi nga be; No. 36334 CPL Kefa Moshi ne No. 54214 PC Cheptai Morris bano twatandise okunoonyereza kukyavuddeko okutta okuttibwa kwa Samuel. Bano bagenda kuvunaanwa omusango gw’okutta wamu n’okugezaako okutta abalala. […]