Embeera e Mityana yazze dda munteeko – Kayima
Omwogezi wa Poliisi Emillian Kayima avuddeyo nagamba nti Poliisi e Mityana esobodde bulungi okugumbulula abantu ababadde bekalakaasa nga bazibye amakubo. Agamba nti Poliisi esobodde okuggula ekubo eribadde lizibiddwa era nga emotoka zizeemu okutambula. Agamby nti abantu 6 balumiziddwa era nga bafuna obujanjabi mu ddwaliro e Mityana era n’abalala 20 nebakwatibwa. Asabye abantu okusigala nga bakkakamu […]
Mubaleete mu kkooti n’obujulizi obutuufu – Owek. Mayiga
Kattikiro wa Buganda Owe. Charles Peter Mayiga avuddeyo nasaba Gavumenti okuleeta Hon. Francis Zaake wamu ne Hon. Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) wamu n’abalala abakwatibwa mu Arua okubaleeta mu Kkooti z’amateeka ezimanyiddwa nti zirina obusobozi obuwozesa abantu n’obujulizi obutabuusibwabusibwa era babawozese ku misango egyo gyennyini gyebazizza. Agambye nti amawulire galaga nti Hon. Zaake ne Hon. […]
10 bafiiridde mu kabenje e Matugga
Akabenje kagudde ku luguudo lw’e Bombo e Matugga Taxi kigege nnamba UBD 237E bwetomereganye Trailer. Kigambibwa nti abantu abawerako balumiziddwa.
Poliisi ekutte abantu 7 ku nasser road
Poliisi mu Kampala ekutte abantu 7 okuli; Mohammed Tarigenda, Dickson Asaba, Nulu Isabirye, Ronald Nkwanga, Joan Nakato, Rashim Nakanwagi ne Badru Mutumba nga bano babadde benyigira mukukuba National ID, ebiwandiiko wamu ne Driving Permit ez’ebiccupuli ku Nasser Road ku kizimbe kya Miracle House. Kigambibwa nti bano byebadde bakola babadde babiguza Bannansi wamu n’abo abatali Bannansi. […]
President Museveni afulumizza ekiwandiiko ku byabaddewo mu Arua
Eri Bannayuganda banange naddala Bazzukulu bange; Ebiseera ebisinga obungi njagala nnyo okwogera eri Abazzukulu bange kuba njagala nnyo bayigire ku byetuyiseemu emyaka 58. Nkitegeera nti abantu bangi babadde beralikirivu ku bikolwa eby’obumenyi bw’amateeka okuva mu b’oludda oluvuganya okuli n’ebyo ebyaliwo mu Arua. Kassiano Wadri Ezati, Kyagulanyi Robert Ssentamu (Bobi Wine) n’abalala abakubye oluseregende lw’emotoka zange […]
Mwewale okukozesa abaana mu birombe
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku kukuuma eby’obugagga eby’omutaka katandise okutalaaga eggwanga nga kasomesa abantu ab’enjawulo okwewala okwenyigira mu kuyikuula eby’obugagga okutali mu mateeka. Omuduumizi wa Mineral Protection Unit SP Jesca Keigomba, agamba nti okusomesa kuno kuyamba abantu bonna era n’abasaba okwekolamu ebibiina ebibagatta. Agamba nti abasaba bewandiise era bafune ne Identity Cards okuva mu Gavumenti n’okumanya abakulembeze […]
Bus za Kkampuni ya Gaagaa ziddamu leero okusaabaza abantu
Kkampuni ya Bus ya Gaagaa kyaddaaki ezeemu leero okusaabaza abantu okubatwala mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo oluvannyuma lw’omwezi mulamba nga tekola. Transport Licensing Board yali yayimiriza kkampuni ya Gaagaa okusaabaza abantu oluvannyuma lw’obubenje obwenjawulo obwagwawo nemufiiramu abantu bangi ssaako n’okulumya abalala. Abantu abawerako balabiddwako mu bitundu eby’enjawulo nga beyuna ebifo ebyenjawulo awasimba Bus zino okutandika okutambula. […]
Babiri bakubiddwa amasasi mu Arua
Abantu babiri bakubiddwa amasasi mu Arua nga kati bali mu ddwaliro ly’e Arua gyebafunira obujanjabi oluvannyuma lwakegugungo akabaluseewo ku mukolo gw’okutongoza ekibiina kya Awakening Youth from Poverty ekya Bryan White Foundation. Olutalo lwatandise nga abavubuka abasoba mu 1000 ababadde bazze ku Boma grounds okutandika okusaba ssente ezabadde zibasuubiziddwa Bryan White. Bano babadde bakulembeddwa ekibinja ky’abavubuka […]
Bakutte ababbira mu Taxi
Ekitongole kya Poliisi ekya Flying Squad kitandise ebikwekweto okufuuza ababadde babira mu Taxi ku nguudo ez’enjawulo mu ggwanga. Ekikwekweto kyatandise enaku 3 eziyise era nga abantu babiri bebakakwatiddwa nga bano bakuliramu ekibinja ekibadde kibbira e Nansana, Kampala, Jinja, Mukono ne Lugazi. Grace Ssebuliba ne James Agaba nga batuuze b’e Nansana bakwatiddwa ku monday ekitongole kya […]