E Kotido okunoonya akalulu kagweredde mu mayinja
Abantu abawerako balumiziddwa mu kulwanagana wakati w’abawagizi b’ebibiina eby’enjawulo ebivuganya mu Kotido Municipality nga balindirira okulonda enkya. Abalumiziddwa ennyo kuliko abakyala babiri nga kati mukufuna obujanjabi mu ddwaliro lya Church of Uganda HIII. Bino byonna byadde mu Central Division e Kotido abawagizi ba eyesimbyewo kululwe Jean Mark Aporu bwebalwanye n’abawagizi b’owa NRM Peter Abrahams Lokii. […]
Muyite mu makubo amatuufu okugenda ebweru – AIGP. Yiga
Poliisi erabudde abaana bonna ab’obuwala abaagala okugenda okukolera ebweru w’eggwanga okwewala okutwalibwa abantu ssekinoomu okwewala okuwambibwa, okuttibwa wamu n’okubatundamu ebitundu by’emibiri eby’enjawulo. Akulira Interpol Uganda AIGP. Fred Yiga bw’ababadde asisinkanye ababaka b’ebitebe by’amawanga agenjawulo mu agambye nti abaana bangi abagendera mu makubo amakyamu bafundikira battiddwa oba nga batundiddwa nga baddu. Ayongeddeko n’agamba nti Poliisi esanga […]
Kkampuni 7 ezibalirira ebitabo ezekikwangala zigaddwa
Poliisi nga eri wamu ne Institute of Certified Public Accountants bakoze ekikwekweto okufuuza kkampuni ezibala ebitabo ez’ekikwangala mu kampala okukakana nga Kkampuni 7 zigaddwa. Omwogezi wa Institute of Certified Public Accountants John Ssengendo agamba nti abantu abasoba mu 5000 befuula ababazi b’ebitabo wabula nga tebalina biwandiiko oba license. Omwogezi w’ekitongole ekikola okunoonyereza ekya CID Vincent […]
Kkampuni ya Bus eya Gaagaa egiddwako license okumala omwezi gumu
Minisitule y’ebyentambula mu ggwanga nga eyita mu Kitongole kyayo ekivunaanyizibwa kukugaba License z’okusaabaza abantu mu ggwanga ekya Transport Licensing Board (TLB) eragidde Kkampuni ya Bus eya Gaagaa egibweko License okumala omwezi gumu omuli obubenje omufiiridde abantu abawerako. Winstone Katushabe, nga ono ye Ssaabawandiisi wa Transport Licensing Board yagambye nti batudde ne basalawo okuyimiriza license ya […]
Ababadde batigomya Kampala n’emiriraano bakwate
Abantu abasoba mu 2321 be bakwatiddwa mu Kampala n’emiriraano mu myezi 6 egiyise lwakwenyigira mu bubbi, okukuba ebiccupuli, obufere wamu n’okukozesa ebiragalalagala. Poliisi nga ekulembeddwamu Kafeero Moses Kabugo adduumira Poliisi mu Kampala n’emiriraano nga ali wamu n’omumyuka we Denis Namuwooza bakola ekikwekweto kya week nnamba wabula mu kiro kimu kyokka bakwata ababbi ababbira ku nguudo […]
Poliisi eyagala abavuga obubi ku nguudo baweebwe ebibonerezo ebikakali
Dr. Steven Kasiima nga ono ye Director wa Traffic police ne Road Safety ayagala etteeka erivunaana abagoba b’ebidduka abavuga obubi likyuusibwe naddala abo abatomera nebatta abantu. Ayagala bano basibwe nga tebaweereddwa mukisa gwa kusasula ngasi kuba ebawa ebeetu, ebiwandiiko biraga nti mu 2017 abantu 3500 bebafiira mu bubenje okwetoloola eggwanga lyona nga obusinga obungi bw’ava […]
Omusirikale wa UPDF akubiddwa ejjinja ku mutwe
Omusirikale wa UPDF abadde aleeteddwa okukuuma emirembe mu kulonda kw’aba ssentebe mu District ye Lira, Ireda Central Park mu Central division akubiddwa ejjinja nerimwasa omutwe. Bino byonna biguddewo oluvannyuma lw’abavunaanyizibwa ku by’okulonda okulwawo okutandika okulondesa abantu nebatandika okwegugunga. Abatuuze bagamba nti omu kubesimbyewo Moses Eyen Independent okusaba abantu okuva mu bitundu ebirala bajje bamulonde. Abasirikale […]
Bayita mu Isiko nga baagala kunzita
Omubaka omukyala owa Kabarole mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga Hon. Sylvia Rwabwogo avuddeyo nayogera ku nsonga y’omuvubuka Brain Isiko eyasibiddwa emyaka ebiri lwakumukwana. Omubaka agamba nti eky’okumukwana si ky’ekikulu kuba akwaniddwa abantu bangi abasinga ne Isiko obuto n’abo abamusingira ddala obukulu, wabula ono yali akozesebwa abantu abamu abaalina ebigendererwa eby’okumusikiriza nga bayita mu mukwano n’oluvannyuma bamutte. […]
Poliisi ereese Patrol z’ebigere mu Kampala n’emiriraano
Omumyuka w’omuduumizi wa Poliisi Brigadier Sabiti Muzeeyi ekiro ekikeeseza olwaleero ayogeddeko eri abasirikale ba Poliisi abagenda okulawuna ku bigere ebitundu bya Kampala n’emiriraano. Ono yasabye abasirikale ba Poliisi okukolera awamu n’abantu babulijjo okusobola okukolawo enjawulo mu by’okwerinda. Ayongedde nagamba nti; ndi musanyufu, kino kyetulina okukola okusobola okumalawo obumenyi bw’amateeka mu bitundu eby’enjawulo. Bano abasabye okutereeza […]