Sports Update from Uganda
Shakib bubefuse ne Kazoora e Lugogo
Ekikonde kinyooka e Lugogo, Shakib wa Zari bugenda kumwefuka ne Kazoora. Abawagizi beyiye mu bungi naye kale waliwo eyabanoonya gyebuvuddeko ku mbaga yagundi temwalabika!? Nomubaka omukyala owa Kampala Shamim Malende nowuwe tebalutumiddwa mwana. #ffemmwemmweffe Bya Nampala Yusuf
Kitalo! Omutendesi Kajoba afudde
Kitalo! Eyaliko omusambi wa ttiimu y’Eggwanga Uganda Cranes era omutendesi wabakuumi ba ggoolo ku ttiimu y’Eggwanga Fred Kajoba Kisitu afudde. Ono afiiridde mu Ggwanga lya Tanzania.
Kitalo! Omuddusi w’emisinde Kiplagat attiddwa
Kitalo! Omuddusi w’emisinde addukira Uganda Benjamin Kiplagat asangiddwa nga yafumitiddwa ebiso nattibwa ng’omulambo gwe gusangiddwa mu motoka ye ku luguudo oludda ewuwe e Kimumu mu Eldoret mu kiro ekikeesezza olwaleero. Poliisi egamba nti bamufumisi ekiso mu kifuba nebamusala n’obulago era nga omulambo gwe gusangiddwa mu kifo kya ddereeva. Eyongerako nti webamutidde basanzeewo piki piki gye […]
Empaka za Mulimamayuuni cup zakomekerezeddwa
Empaka za Mulimamayuuni Cup ezategekebwa Omubaka akiikirira Mukono County North Munnakibiina kya National Unity Platform Hon. Abdallah mu kaweefube w’okukulaakulanya ebitone kyakomekerezeddwa nga buli ttiimu eyetabyeemu yaweereddwa omujoozi n’emipiira, ttiimu eyawangudde yetwalidde ente. Mu ngeri yemu era Omubaka Ono yaduukiridde abavubuka abavuga booda booda nga bakola ebibiina byabwe mwebatereka ssente, yabawadde piki piki piki empya. […]
Harry Maguire akirizza okwetonda kwa MP w’e Ghana
Omubaka wa Palamenti ow’Eggwanga lya Ghanan Isaac Adongo eyavaayo nageraageranya Minisita ku muzibizi wa Manchester United Harry Maguire eyali asamba obubi omwaka oguwedde yavuddeyo namwetondera era namuwaana olw’ensamba ennungi gyayolesa kati. Maguire akirizza okwetonda kwe nategeeza nti amwesunga okumulabako ku Old Trafford.
Kitalo! Darius Mugoya afudde
Kitalo! Omumyuuka w’omukulembeze w’ekibiina ekitwala omupiira ogw’ebigere mu Ggwanga ekya Federation of Uganda Football Associations (FUFA) Darius Mugoya afudde enkya yaleero. Ono afiiridde mu Ddwaliro e Mengo.
Ssimbwa ye mumyuuka w’omutendesi wa Uganda Cranes omuggya
Omutendesi wa Uganda Cranes omuggya Put Paul Joseph alonze Sam Ssimbwa ngomumyuuka we. Ekitongole ekitwala omupiira ogwebigere mu Ggwanga ekya FUFA kikiriziganyizza naye era Ssimbwa atandikiddewo emirimu gye. Abanamuyambako abalala bakulangirirwa oluvannyuma.
FUFA eyanjudde omutendesi wa Uganda Cranes omuggya
Omutendesi wa ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ogw’ebigere eya Uganda Cranes Paul Joseph Put ayanjuddwa olunaku olwaleero ku kitebe ky’ekibiina ekitwala omupiira mu Ggwanga ekya Federation of Uganda Football Associations (FUFA) ku FUFA House. Ono ayaniriziddwa avunaanyizibwa ku by’amawulire mu FUFA Ahmed Hussein.
Omusambi wa New Castle akaligiddwa emyezi 10 nga tasamba mupiira lwakusiba kapapula
Omuzannyi wa ttiimu ya Newcastle munnansi wa Italy, Sandro Tonali akaligiddwa emyezi 10 nga teyeetaba mu muzannyo gwa mupiira oluvannyuma lw’okusingisibwa omusango gw’okusiba akapapula. Tonali yakwatibwa wiiki ewedde bweyali agenze okwegatta ku ggwanga lye nga bagenda okuzannya emipiira gy’okusunsulamu abaneetaba mu mpaka z’ekikopo ky’amawanga ga Bulaaya omwaka oguggya.