SSEKITOOLEKO AKOMEZEDDWAWO MU GGWANGA

Ssekitoleko yewaddeyo mu mikono gya Poliisi

Amawulire agava e Japan galaga nti kyaddaaki Munnayuganda omusituzi w’obuzito eyabula mu nkambi Julius Ssekitoleko 20, yawaddeyo mu mikono gya Poliisi e Mie Prefecture nga wano ovugirawo essaawa 3 oba essaawa 12 mu ntabula eyalukale okuva mu woteeri mweyali asula e Izumisano.

JULIUS YAYAGALA DDA OKUKOLERA E JAPAN

Munnayuganda omusituzi w’obuzito eyabula mu nkambi e Japan Julius Ssekitoleko yalabiddwako ku kkamera enkettabikolwa e Izumisano kiromita 200 mu maserengeta ga Nagoya. Abasirikale ba Poliisi e Izumisano bagambye nti yalese akabaluwa mu wooteri nga agamba nti yali yayagala dda okukolera e Japan, nagula tiketi yeggaali yomukka eyamututte e Nagoya.

MUNNAYUGANDA OMUSITUZI W’OBUZITO ABULIDDE E JAPAN

Poliisi e Japan etandise omuyiggo gwa Munnayuganda omusituzi w’obuzito Julius Ssekitooleko eyabuze okuva mu nkambi nga ebula wiiki emu empaka za Olympics okutandika mu kibuga Tokyo. Kigambibwa nti Ssekitooleko yabadde alina okubeera mu nkambi mu kibuga Izumisano, mu Osaka prefecture nga yabadde alina okulabika okukeberebwa COVID-19 mu ttuntu wabula natalabikako. Bwebakebedde mu wooteri mwasula nga […]

Express FC ekwasiddwa ekikopo kya SUPL

#SimbaSportsUpdates; Ttiimu ya Express Football Club ekwasiddwa ekikopo kya StarTimes Uganda Premier League SUPL mu butongole oluvannyuma lwakakiiko k’ekibiina ekitwala omupiira ogw’ebigere mu Ggwanga ekya Federation of Uganda Football Associations (FUFA) okutuula nekasalawo nti oluvannyuma lwa liigi okutaataganyizibwa ekirwadde kya ssenyiga omukabwe liigi ekomekerezebwe ng’ebula emipiira 4.

Pulezidenti asiibudde ttiimu ya Yuganda egenda e Tokyo

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni wamu ne Mukyala we era Minisita w’ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Kataaha Museveni olunaku olwaleero basiibudde ttiimu ya Yuganda egenda mu mpaka za Tokyo 2020 Olympic & Paralympic Games. Hamson Obua ne Ambassador wa Japan e Yuganda H.E. Fukuwa Hidemoto, omuwandiisi ow’enkalakkalira mu Minisitule y’ebyenjigiriza Alex Kakooza, Pulezidenti wa Uganda Olympic Committee Don […]

Mubiru aguliddwa Middlesbrough

Munnayuganda eyazaalibwa e Bungereza Karl Anthony Uchechukwu Mubiru Ikpeazu aka Uche Ikpeazu 26, akasinddwa Kkiraabu ya Bungereza Middlesbrough FC ngava mu kkiraabu ya Wycombe Wanderers FC ku ndagaano ya myaka 3. Ikpeazu ye muteebi wa Wycombe ebadde ne ggoolo ezisinga.

EXPRESS FC BALANGIRIDDWA NGA ABAWAGUZI BA LIIGI

  FUFA Emergency Executive Committee etudde olunaku olwaleero nga 29 June 2021 ekoze okusalawo okukomekereza ekikopo kya 2020/21 StarTimes Uganda Premier League nga esinziira ku Article 18, Section 1, Sub-section C & D of the FUFA Competition rules. Ligamba nti singa; Singa wabaawo ekiremesa liigi okuggwa bino byebijja okugobererwa okulondako omuwanguzi; c) Singa kiraabu ebeera […]

Ogwa Denmark ne Finland gusaziddwamu

#SimbaSportsUpdates: Omupiira wakati wa Denmark ne Finland mu kikopo kya UEFA EURO 2020 e Copenhagen gusaziddwamu oluvannyuma lw’omusambi wa Denmark Christian Dannemann Eriksen aka Christen Eriksen okugwa ku kisaawe.

Omusambi agamba nti yazaalibwa 1990 nga Maama we yafa mu 1985 bumukeeredde

#SimbaSportsUpdates: Omusambi wa Ttiimu ya Gabon ey’eggwanga Guélor Kanga Kaku wakulabikako mu Kakiiko ka Confederation of African Football – CAF akakwasisa empisa annyonyole ku ky’emyaka gye era annyonyole lwaki Maama we yafa mu 1986 ate ye nazaalibwa mu 1990. twitter follower kaufen