Sports Update from Uganda
FUFA eronze Minisita Nakiwala okutegeka eza CECAFA
#SimbaSportsUpdates; Ekibiina ekitwala omupiira ogw’ebigere mu Ggwanga ekya Federation of Uganda Football Associations (FUFA) kironze omumyuuka o’wokusatu owa Pulezidenti wa FUFA Minisita Florence Nakiwala Kiyingi okukulira olukiiko oluteesiteesi olwa CECAFA U-20 Women Championship ezigenda okuyindira mu Yuganda ku FUFA Technical Centre-Njeru. Empaka zino zisuubirwa okutandika nga 22 August 2021.
Giweze emyaka 17 bukyanga Paul Hasule afa
#SimbaSportsHistory: PAUL EDWIN V8 HASULE WUMMULA MIREMBE: Bwerwali bweruti nga 26 April 2004 Munnabyamizannyo Paul Edwin ‘V8’ Hasule 44, naava mu bulamu bw’ensi eno. Olwaleero giweze emyaka 17 bukyanga ava mu bulamu bwansi eno. Hasule yaliko omuduumizi era Omutendesi wa Ttiimu y’eggwanga Uganda Cranes. Yasambirako ttiimu ya SC Villa okuva mu 1984 – 1993. Yatendekako […]
Dixon Okello awangudde engule ya CAF ey’obukuumi
DIXON OKELLO AWANGUDDE ENGULE YA CAF: Bannayuganda Dixon Bond Okello, Hajji Jamil Ssewanyana, Hajji Abdul Lukooya Ssekabira ne Humphrey Mandu batuuse dda mu Cameroon okwetaba mu lusirika olusoose olwa CAF Safety and Security Officers’ Retreat. Okello Dixon aka Bond yawangudde engule ya Best CAF Safety & Security Officer 2020.
Palamenti yakusiima Denis Onyango
PALAMENTI YAKUSIIMA DENIS ONYANGO: https://youtu.be/hEsY1wwzcCg Omukubiriza w’Olukiiko olukulu olw’eggwanga Rt Hon Rebecca Alitwala Kadaga mu kwogerakwe ategeezezza ababaka ba Palamenti nga Palamenti bwegenda okutegekayo olutuula olw’enjawulo okusiima omukwasi wa Ggoolo ya ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ogw’ebigere Uganda Cranes Denis Onyango Masinde olwomulimu ogwettendo gweyakolera eggwanga wamu n’okulaakulanya eby’emizannyo mu Yuganda ne Afirika.
Golola agemeddwa COVID-19
Omukubi wensambaggere Golola Moses olunaku olwaleero agemeddwa ekirwadde kya #COVID-19. Okusinziira ku Ministry of Health- Uganda abantu 232514 bebakagemebwa webwatuukidde nga 19-April-2021. #COVIDVaccinationUG
FUFA egobye Johnathan McKinstry
FUFA EGOBYE OMUTENDESI WA UGANDA CRANES: Ekibiina ekiddukanya omupiira ogw’ebigere mu Ggwanga ekya Federation of Uganda Football Associations (FUFA) kivuddeyo nekitegeeza nga bwekituuse kunzikiriziganya n’omutendesi wa Ttiimu y’eggwanga eya Uganda Cranes Johnathan McKinstry, nga abadde amaze emyezi 18 nga atendeka ttiimu y’eggwanga. FUFA egamba nti emusiimye nnyo ebbanga lyakoze naye okutumbula ebitone naddala ku ttiimu […]
FUFA tenagoba ku mutendesi
TETUNAGOBA KU MUTENDESI: Ekitongole ekivunaanyizibwa ku mupiira ogwebigere mu Ggwanga ekya Federation of Uganda Football Associations (FUFA) kivuddeyo nekisambajja ebibadde bitambuzibwa nti kigobye omutendesi wa Ttiimu y’Eggwanga Uganda Cranes Johnny Mckinstry. FUFA egamba tebanakola kusalawo ku nsonga eno.
Mike Azira naye akitadde!
#SimbaSportsUpdates; Omusambi wa Ttiimu y’Eggwanga Uganda Cranes Mike Azira yavuddeyo olunaku lweggulo nategeeza nga bwawumudde omupiira ku ttiimu y’eggwanga. Ono yomu ku basambi abaava ttiimu ya SC Villa ento eya Jogoo Young. Ono yeggasse ku muduumizi wa Ttiimu Denis Masinde Onyango ne Hassan Wasswa Mawanda.
Onyango anyusse omupiira ku ttiimu y’eggwanga
ONYANGO ATADDE TTIIMU Y’EGGWANGA: https://youtu.be/IjZGoWT39vA Omukuumi wa Ggoolo ya Uganda CranesDenis Masinde Onyango avuddeyo nategeeza nga bwanyuse omupiira ku Ttiimu y’Eggwanga; “Nsazeewo nangirire ne naku nnyingi nti nsazeewo okuwummuza giraavuzi zange ku ttiimu y’eggwanga. Oluvannyuma lwokwogera ne famire yange, maneja nange okwefumiitiriza nsazeewo mpummule. Nebaza nnyo buli Munnayuganda ababaddewo emyaka gyonna.” https://youtu.be/IjZGoWT39vA