Sports Update from Uganda
KCCA FC egobye Mike Mutebi
KCCA FC EGOBYE MIKE MUTEBI: Omuwandiisi omukulu owa KCCA FCavuddeyo nategeeza nga bwebayimirizza Manager, Mike Hillary Mutebi olwaleero nga 29-March-2021 oluvannyuma lwokukiriziganya okuyimiriza kkontulakita ye. Kiraabu nga eri mu mikono gye basobodde okuwangula ebikopo bya liigi 3, Uganda Cup 2, Super Cup 4 ne CECAFA 1 mu myaka 5. Morley Byekwaso kati yali mu mitambo […]
Uganda 0 – 0 Burkina Faso AFCON Qualifiers
Uganda 0 – 0 Burkina Faso: Omupiira wakati wa Uganda ne Burkina Faso guwedde. Uganda 0 – 0 Burkina Faso nga gubadde ku St. Mary’s Stadium e Kitende. Uganda kati erina obubonero 8 ate Burkina Faso 9 mu kibinja B. #UGABFA #Tukiggale
FUFA egobye Khalid Aucho mu nkambi ya Uganda Cranes lwa mpisa
KHALID AUCHO AGOBEDDWA; Ekibiina ekitwala omupiira ogw’ebigere mu Ggwanga kivuddeyo nekitegeeza nga bwekigobye omusambi Khalid Aucho okuva mu nkambi ya ttiimu y’eggwanga eya Uganda Cranes lwokulemererwa okugondera biragiro bya National team Code of Conduct nebyo ebyafulumira mu kiwandiiko kya FUFA nga 4 March 2021. Uganda Cranes yetegekera emipiira 2 egya AFCON Qualifiers okuli ogwa Burkina […]
Omusambi wa Wakiso FC ayimiriziddwa emipiira 4
OMUSAMBI SSEKAJUGO AYIMIRIZIDDWA; Akakiiko akakwasisa empisa aka FUFA Competitions Disciplinary kayimirizza omusambi wa Wakiso Giants Fc Ssekajugo Viane okumala emipiira 4 nga tasamba. Ssekajugo yasingisiddwa omusango gwokukozesa ebigambo ebisongovu eri ba ‘match officials’ abali mu mupiira gwa Kitara Football Club Hoima ne Wakiso Giants ogwasambibwa nga 10 March 2021 mu Kavumba Recreation Ground Wakiso.
Omusambi wa Mbarara City ayimiriziddwa emipiira 4
#SimbaSportsUpdates; Akakiiko akakwasisa empisa aka FUFA Competitions Disciplinary Panel kayimirizza omusambi wa Mbarara City Fc Hillary Mukundane okumala empiira 4 nga tasamba. Kigambibwa nti Mukundane yakozesa olulimi olutiisatiisa, ebinnyomoola, ebivvoola era ebirumya wamu n’ebikolwa ebyefujjo ku ba ‘match officials’ abaali mu mitambo gy’omupiira ogwali wakati wa Onduparaka FC ne Mbarara City nga 9.3.2021 ku Green […]
Ayawangulira Yuganda omuddaali ali mu mbeera mbi
SIMBA SPORTS UPDATES; Hellen Baleke eyawangulira Yuganda omuddaali gw’ekikomo All Africa Games e Morocco mu 2019 embeera gyabeeramu mu Katanga mu Kampala eyungula ezziga. Hellen yazaalibwa nga 3 May 1987 nga ye mukyala omukubi w’ebikonde Omunnayuganda eyasooka okuwangula omuddaali gw’ekikomo. Amazzi gamuyingirira mu nnyumba. Osobola okumuyamba ng’oyita ku nnamba ye eno +256 702 046305.
Gomba 3 – 1 Buddo; Masaza Cup 2021
MASAZA CUP 2021; Essaza lya Gomba bebannantameggwa ba Airtel UgandaMasaza Cup 2021 oluvannyuma lwokukuba essaza lya Buddu ggoolo 3 ku 1 (3′ Charles Bbaale, 8′ Titus Ssematimba, 12′ George Kaddu, 18′ Gift Fred). Busiro 5 – 3 Bulemeezi Bwerityo essaza lya Busiro likutte kyakusatu oluvannyuma lwokukuba Bulemeezi 5-3 mukusimula ppenati.
Referee eyalamula ogwa Vipers SC ne Police FC abonerezeddwa
Ekibiina ekivunaanyizibwa ku mupiira ogw’ebigere mu Ggwanga ekya Federation of Uganda Football Associations (FUFA)kivuddeyo nekiyimiriza National Assistant Referee Mr. Juma Osire okumala omwezi gumu. Okwemulugunya kwatekebwayo eri Akakiiko akakwasisa empisa ku Juma Osire olwokukola ensobi engenderere mu mupiira ogwali wakati wa Vipers SC ne Uganda Police Football Clubnga 19 February 2021 ku St Mary’s Kitende […]
AIGP Kasingye alagiddwa okusasula engasi
ASAN KASINGYE ABONEREZEBWE; Akakiiko k’ekibiina ekitwala omupiira ogw’ebigere mu Ggwanga ekya Federation of Uganda Football Associations (FUFA)akakwasisa empisa aka FUFA Ethics and Disciplinary Committee kabonerezza Ssentebe wa Police FC AIGP Asan Kasingye olwokumenya akawayiro Article 39(2) aka FUFA Ethics Code akatangira abantu abakwatibwako akawayiro kano obutayogera binyomoola FUFA oba omuntu yenna eyenyigira mu mirimu gya […]