Poliisi etandise okunoonyereza ku kuttibwa kwa Zebra

Omukubi w’ebikonde Zebra Ssenyange atiddwa

Kitalo! Eyaliko Kkamputeni wa ttiimu y’ebikonde eya Bombers Zebra Mando Ssenyange akubiddwa amasasi agamutiddewo ekiro ekikeesezza olwaleero okuliraana amaka ge e Bwaise. Kigambibwa nti abamusse bamufulumizza mu nnyumba ye nebamuttira mu lukuubo ewamulirwana.

Kitalo! Pole Pole Wilbert afudde

#SimbaSportsUpdates: Kitalo! Omuvuzi w’emotoka z’empaka Pole Pole Wilbert okuva mu Kajara Rally Team afudde akawungeezi kaleero.

SC Villa ekubye KCCA FC ggoolo 2 ku 1

#SimbaSportsUpdates; SC Villa ekubye KCCA FC ggoolo 2 ku 1 mu liigi ya StarTimes Premeir League ng’omupiira gubadde wali ku kisaawe ky’amaggye e Bombo. Yo Bright Stars FC ekubye MYDA ggoolo 3 ku 2 nga guno gubadde Kavumba, BIDCO/Bull FC ekubiddwa URA Football Club ggoolo 2 ku 0 nga guno gubadde ku Kyabazinga Stadium e […]

Ssaabasajja aguddewo emipiira gy’amasaza

Ssaabasajja Kabaka nga assa omukono ku mupiira ng’akabonero akalaga nti empaka azigguddewo. Ekitundu ekisooka kiwedde, Butambala ekulembedde Bulemeezi ggoolo 1-0. #MasazaCup2020

South Sudan 1-0 Uganda Cranes

#SimbaSportsUpdates; South Sudan 1-0 Uganda Cranes, Munnansi wa South Sudan eyazaalibwa mu Yuganda Tito Okello yateebye Yuganda Ggoolo. Yuganda esigadde n’abasambi10 oluvannyuma lwa Khalid Aucho okuweebwa kkaadi emyuufu.

Uganda Cranes etuuse e Kenya

#SimbaSportsUpdates; Ttiimu y’Eggwanga eya Uganda Cranes bataka mu kibuga Nairobi ku woteeri ya Tamarin Tree Hotel, Langata nga betegekera okuddingana ne South Sudan mu #AFCON2021 Qualifiers. #SSDUGA

Uganda Cranes 1-0 South Sudan

#SimbaSportsUpdates; Uganda Cranes 1-0 South Sudan, Ggoolo ya Uganda Cranes eteebeddwa Halid Lwaliwa mu Ddakiika eye 84 nga gubadde mutwe oguvudde mu kusimmula ekisobyo okuva ewa Farouk Miya.

Pulezidenti wa FIFA asangiddwa ne COVID-19

#SimbaSportsUpdates; Ekibiina ekitwala omupiira mu nsi yonna ekya FIFA kivuddeyo nekitegeeza nti Pulezidenti wa FIFA Gianni Infantino bwakebereddwa nasangibwa n’obulwadde obwa #COVID-19.

Joshua Cheptegei yamenye likodi y’ensi yonna

#SimbaSportsUpdates; Munnayuganda omuddusi w’emisinde Joshua Cheptegei yamenye likodi ya mita 10000 mu NN Valencia mu kisaawe kya Turia mu kiro ekikeesezza olwaleero. Cheptegei yamenyeewo likodi ya Munnansi wa Ethiopia Kenenisa Bekele eyeddakiika 26:17:53. Yataddewo empya eyeddakiika 26:11:02.