Liverpool be banantameggwa ba Liigi ya Bungereza 2019/20

Arsenal ewadde David Luiz endagaano empya

#SimbaSportsUpdates; Ttiimu ya Arsenal eyongedde Luiz endagaanao empya ya mwaka gumu nesigaza nabo ababadde ku bbanja mu kiraabu eno. ✍️ Endagaano ya mwaka gumu ✅ • David Luiz • ✍️ Abadde ku bbanja naweebwa endagaano. ✅ Pablo Marí ✍️ Abadde ku bbanja naweebwa endagaano. ✅ Cédric Soares ✍️ Akyaliyo ku bbanja ✅ Dani Ceballos

Abdul Lumala alongoseddwa evviivi

#SimbaSportsUpdates; Omusambi wa Uganda Cranes Lumala Abdu alongoseddwa evviivi mu kibuga Brussels. Lumala asuubirwa okumala emyezi 6 nga tasamba mupiira okusobola okuwona. Federation of Uganda Football Associations (FUFA)

Novak Djokovic akebereddwa nasangibwa n’ekirwadde kya #COVID-19

#SimbaSportsUpdates; Nnamba emu mu nsi yonna owa ttena Novak Djokovic akebereddwa nasangibwa n’ekirwadde kya #COVID-19 nga yakava mu Adria Tour. Djokovic agamba nti ye ne Mukazi we Jelena, bakebereddwa nebasangibwa n’obulwadde buno wabula bbo abaana baabwe bbo balamu era kati bagenze mu ‘self isolation’.

Pulezidenti akasiimu kaffe tetwakafuna – Onyango

Abasambi ba Uganda cranes bavuddeyo nebawanjagira Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni atuukirize ekisuubizo Ky’akakadde ka Ddoola keyabawa oluvannyuma lw’okwolesa omutindo ogw’enjawulo mu kikopo kya Afcon 2019 ekyali mu Egypt. omudduumizi wa ttiimu eno eyali mu Egypt Denis Onyango agamba nti ye nebasambi banne sibasanyufu nga bagamba nti tebasiimibwa era baagala Pulezidenti atuukirize ekisuubizo kye.

Leroy Sane wakwabulira Manchester City

#SimbaSportsUpdates; Josep Pep Guardiola omutendesi wa Manchester City avuddeyo nategeeza nga Leroy Sané bwagaanye endagaano empya nti era wakwabulira ttiimu eno. Guardiola ategeezezza nti, ttiimu ya FC Bayern München bweyesowoddeyo nesonga ku Sane ng’omusambi gwebetaaga sizoni ejja.

Desabre alondeddwa ng’omutendesi wa Chamois

#SimbaSportsUpdates; Eyaliko omutendesi wa Uganda cranes Desabre Sébastien (officiel) alangiriddwa olunaku olweero ng’omutendesi wa Chamois Niortais FC nga alangiriddwa Pulezidenti wa kiraabu eno Karim Fradin. 🔵⚪️⚽️🎙

Azam FC esindikidde Nicholas Wadada emutwale

#SimbaSportsUpdates; Ttiimu ya Tanzania eri mu kibinja kya Premier League, Azam FC yasindise ennyonyi okukima omusambi wa Uganda Cranes Wadada Nicholas nga betegekera liigi okuddamu ku Sunday. Wadada yegatta ku Azam FC nga ava mu ttiimu ya Vipers SC eya Yuganda nga kkontulakiti ye yali yakuggwako mu July 2021 wabula mu December wa 2019 yassa […]

Nkurunziza omutendesi w’omupiira atalyerabirwa

#SimbaSportsUpdates; Omugenzi Pierre Nkurunziza omupiira gubadde gumunyumira, teyakoma ku kwagala kugusamba wabula abadde Mutendesi wa mupiira nga alina layisinsi A eya CAF era nga yetendekako kiraabu bbiri okwali ey’eggye lya Burundi eya Muzinga, wamu ne Union Sporting, eyali mu kibinja ekisooka mu gye 90. Abadde alina ne ttiimu eyiye emanyiddwa nga Hallelujah FC nga era […]

FUFA ewaddeyo Njeru Technical Centre ekozesebwa mukulwanyisa ekirwadde kya COVID-19

Ekibiina ekitwala omupiira ogw’ebigere mu Ggwanga ekya Federation of Uganda Football Associations (FUFA) kiwaddeyo FUFA Technical Centre esangibwa e Njeru mu Disitulikiti y’e Buikwe eri District Covid-19 Task force ekozosebwe mu mirimu gyokulwanyisa ekirwadde kya COVID-19 mu Ggwanga. Ekifo kino kyakwasiddwa Dr. Bbosa Richard (Akulira Buikwe District Covid-19 Task force) ng’omulimu gwawomeddwamu omutwe Buganda Region […]