Sports Update from Uganda
Abatendesi ba Mbarara City FC Junior basasuddwa
#SimbaSportsUpdates; Abatandesi ba Mbarara City FC Junior Team Faisal Ssempijja ne Salim Twaha bafunye akaseko oluvannyuma lw’ekibiina ekitwala omupiira mu Ggwanga ekya Federation of Uganda Football Associations (FUFA) okubasasula ensimbi zaabwe eza sizoni ya 2017/18 ne 2018/19.
Okukola Training tekukoma – Emma Waswa
#SimbaSportsUpdates: Omusambi wa SC Villa Jogoo Emma Wasswa, agamba nti okusobola okusigala nga wekuumidde ku mutindo olina okusigala nga okola ‘training’ nga oyongera ku bukodyo bwo wamu n’okwekuumira ku mutindo. Wadde nga waliwo ‘lockdown oba nga teriiwo olina kusigala nga okola training. #Covid19 #SCV #TheJogoos 🔵🔴✌
Embeera ekisaawe ky’e Namboole gyekirimu eyungula ezziga
#SimbaSportsUpdates; Minisita okwogera bino yabadde kyavudde ku kisaawe kye Namboole obutatuuka ku mutindo n’obukwakulizo obwateekebwawo ekibiina ekitwala omupiira mu Africa ekya Confederation of African Football – CAF wamu n’ekyo ekitwala omupiira mu nsi yonna ekya @FIFA – Fédération Internationale de Football Association nga kino kyanditeeka ttiimu y’eggwanga Uganda Cranes mu kattu nga olwo ebeera eyolekedde […]
Majid ‘Magic’ Musisi
Eyali emunyeenye ya Uganda Cranes ne SC Villa Majid Musisi enjaganya ye gyeyalekawo eyatuumibwa ‘Crocodile Celebration’ ekyaliwo nakati mu Bursaspor FC. Ku kisaawe kya Timsah Arena – amaka ga Bursaspor FC mu Turkey kyazimbibwa nga basinziira ku linnya lyayo eppatiike erya ‘Green Crocodiles’. Majid ‘Magic’ Musisi yazannyirako kiraabu eno era buli lweyagiteeberanga ggoolo nga akka […]
Gus Poyet ku Mourinho
#SimbaSportsUpdates;Gus Poyet ku Mourinho: “Njakwewuunya nnyo bwemunamuwa emyaka 3 mu kiraabu, njakwewuunya nnyo bwatawangule kikopo. Njakwewuunya nnyo.’
Cristiano Ronaldo yateebera Real Madrid Hat-tricks 44
#SimbaSportsUpdates; Leero giweze emyaka 10, bukyanga nga Cristiano Ronaldo ateeba hat trick ye esooka kwezo 44 eza Real Madrid C.F. 👑
Neymar asaze ku musaala ggwe okusobola okudda mu Barcelona
#SimbaSportsUpdates; Neymar da Silva Santos Júnior aka Neymar Jr. avuddeyo nakiriza okusala ku musaala ggwe ebitundu 50 ku 100 okusobola okudda mu ttiimu ya FC Barcelona nga ava mu PSG – Paris Saint-Germain gyabadde afuna emitwalo 60 buli wiiki.
Omuzannyi amaze emyaka 2 mu coma azze engulu
#SimbaSportsUpdates;Omusambi wa AFC Ajax Abdelhak Nouri ‘Appie’ nga Muddaaki azze engulu oluvannyuma lw’emyaka 2 n’emyezi 8 nga ali mu coma. Nouri yaggwa mu kisaawe mu July 2017 oluvannyuma lw’okufuna ekisago ku bwongo mga afunye ‘Cardiac arrhythmia’ mu pre-season nga bazannya omupiira ogw’omukwano ne SV Werder Bremen.
Kitalo! Eyaliko Pulezidenti wa Real Madrid afudde
Kitalo! Eyaliko Pulezidenti wa kiraabu y’omupiira ogw’ebigere Real Madrid C.F. okuva 1995-2000 Lorenzo Sanz Mancebo aka Lorenzo Sanz, afudde. Ono abadde atawanyizibwa ekirwadde kya #COVID19.