Sports Update from Uganda
Capt. Mike Mukulu azzeemu okuvuga emotoka z’empaka
#SimbaSportsUpdates; Capt. Mike Mukula azzeemu okuvuga emotoka z’empaka. Ono yaguze emotoka ekika kya Subaru N14 Kuku Ranjit. Capt. Mike Mukula 64, yatandise okwegezaamu alabe nga ayuga abavuzi abato abaliwo kati.
Haliimah Nakaayi yawangudde zaabu mu misinde
#SimbaSportsUpdates; Munnayuganda omuddusi w’emisinde Halima Nakaayi yawangudde omuddaali ogwazaabu mu misinde gya “IAAF women’s 800 metres final” mu 1:58.04🥇mu kiro ekikeesezza olwaleero. #IAAFDoha2019 #WorldAthletics 🇺🇬🇺🇬
Uganda Cranes efunye Omutendesi omuggya
#SimbaSportsUpdates; Kyaddaaki ttiimu y’eggwanga eya Uganda Cranes efunye omutendesi omuggya nga ye Jonathan Mckinstry ono abadde atendeka Saif Sporting Club Ltd. eya Bangladesh.
Magogo azze ebbali
#SimbaSportsUpdates; Pulezidenti w’ekibiina ekitwala omuzannyo gw’omupiira mu Ggwanga ekya Federation of Uganda Football Associations (FUFA) Eng. Moses Magogo avuddeyo nategeeza nti azzeeko ebbali Ku bbwa Pulezidenti bwa FUFA asobole okunoonyerezebwako Ku bigambibwa nti yatunda tikiti z’emipiira gya World Cup ezamuweebwa okuva mu kibiina ekitwala omupiira mu nsi yona ekya FIFA World Cup nga zalina kugabibwa […]
Messi yemusambi w’omwaka owa FIFA 2019
#SimbaSportsUpdates; Emunyeenye ya Barcelona Lionel Messi yeyawangudde engule ya Best Male FIFA Football Award mu Milan ye Omusambi wa Juventu Cristiano Ronaldo n’owa Liverpool Virgil van Dijk yabamezze. Omutendesi wa Liverpool Jurgen Klopp yeyalondeddwa nga Omutendisi omusajjja asinze. Yo Ttiimu ya FIFA FIFPRO eyalondeddwa yeno; Goalkeeper – Alisson (Liverpool/Brazil) Defenders – Matthijs de Ligt (Ajax […]
Embogo n’Ennyonyi ennyange be banantameggwa b’ebika 2019
Embogo yawangudde empaka z’omupiira gw’ebika by’abaganda oluvannyuma lw’okukuba e Kkobe goolo 1-0, eyateebeddwa Nelson Ssenkatuuka. Ate mu bakyala e Nnyonyi e Nnyange yakubye e Mmamba. Ssaabasajja yakwasizza abawanguzi engabo wamu n’emidaali.
Embogo 1 – 0 Ekkobe Bika cup finals
Bazzukulu ba Kayiira abeddira e Mbogo bawangudde Bazzukulu ba Nammwama abeddira Ekkobe ku fayinolo y’emipiira gy’ebika 2019 e Masaka mu Recreation Grounds. Masaka awuumye nga Ssaabasajja Kabaka eyasiimye okubeerawo nga alabiseeko eri Obuganda.
Omuteebi gweberabidde olutuuse ku kisaawe amenyekeddewo okugulu
#SimbaSportsUpdates: El Kabir omuteebi wa ttiimu ya Caykur Rizespor bamwerabidde ku kisaawe webabadde batendekebwa nga bagenda okusamba Sivasspor. Yawaliriziddwa okupangisa emotoka emutwala ku kisaawe wabula abasirikale nebamugaana okuyingira. Oluvannyuma lw’eddakiika eziwerako ng’omupiira gutandise bamukirizza okuyingira. Yatuuse ku kisaawe nebamuyingiza ekyenaku namenyekera okugulu ku kisaawe era nga wakumala emyezi 6 nga tasamba.
Bwerwali bweruti Ronaldo nasambira Portugal omupiira ogusooka
#SimbaSportsUpdates; 📅 Emyaka 16 egityise bwerwali bweluti Cristiano Ronaldo dos Santos Aveiro GOIH ComM aka Cristiano Ronaldo nasambira ensi ye eya Portugal 🇵🇹 omupiira ogusooka. 🎓 158 Caps ⚽️ 88 Goals 🎩 7 Hattricks 🏆 2 Trophies 🏆 European Championship Winner 🏆 UEFA Nations League Winner 🥈 European Championship Runner-Up