Sports Update from Uganda
Rajiv awangudde empaka z’emotoka, Lwakataka akutte kyakubiri
#SimbaSportsUpdates; Rajiv Ruparelia awangudde empaka z’emotoka Federation of Motorsport Clubs of Uganda – FMU Kayunga ezibaddeyo olunaku olwaleero mu 5:18.2, addiriddwa Ponsiano Lwakataka 05:22.2, Ronald Ssebuguzi 05:24.5, Arthur Blick JNR 05:32.3 n’abalala nga mubaddemu abavuzi 22.
Morocco 0 – 0 Namibia AFCON 2019
#SimbaSportsUpdates; Morocco 0 – 0 Namibia bagenda mu kitundu kyakubiri wali mu Al-Salam Stadium Cairo. Ttiimu nga bweziri ku kisaawe; Morocco (an unnecessarily cautious 4-2-3-1): Bounou; Hakimi, Benatia, Saiss, Dirar; Bourabia, Bennasser; Boussoufa, Amarabat, Ziyech; En-Nesyri. Namibia (a classical 4-4-2): Kazapua; Horaeb, Hanamub, Haoseb, Nyambe; Shitembi, Hotto, Starke, Ketjijere; Limbondi, Shalulie. #AFCON2019
Obukodyo obwawanguzza Uganda Cranes bwava Rwakitura – Don Wanyama
Don Wanyama yavuddeyo ku mukutu gwe ogwa Twitter oluvannyuma lwa ttiimu ya Uganda Cranes okuwangula n’awandiika bwati; “Byonna byatandikira Rwakitura Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ne mukyala we Janet Museveni nga babawa obukodyo bw’obuwanguzi. Abavubuka bano bawuliriza bulungi. Muyogeyoge. Kati tuzaako Zimbabwe.” #AFCON2019
Emmanuel Okwi yalondeddwa ku bwa Man of the Match
#SimbaSportsUpdates; Omusambi wa Uganda Cranes Emmanuel Okwi yeyalondeddwa nga ‘Man of the Match mu mupiira gwa #AFCON2019 Uganda bweyabadde esamba DR. Congo female egikube ggoolo 2 – 0.
Uganda Cranes 2 – 0 DR. Congo guno guwedde
#SimbaSportsUpdates; Omupiira wakati wa Uganda Cranes ne Democratic Republic of the Congo guwedde. Uganda Cranes 2 – 0 DR. Congo nga gubadde wali mu Cairo International Stadium mu Egypt. #AFCON2019 Federation of Uganda Football Associations (FUFA)
Uganda Cranes 2 – 0 DR Congo
#SimbaSportsUpdates; Uganda Cranes 2 – 0 Democratic Republic of the Congo. Ggoolo eteebeddwa Emmanuel Arnold Okwi. #AFCON2019 Federation of Uganda Football Associations (FUFA)
Ekitundu ekisooka kiwedde Uganda Cranes vs DR Congo
#SimbaSportsUpdates; Ekitundu ekisooka kiwedde nga Uganda Cranes 1 – 0 Democratic Republic of the Congo. Ggoolo ya Yuganda yateebeddwa Patrick Kaddu. Federation of Uganda Football Associations (FUFA)
Uganda Cranes 1 – 0 DR Congo
#SimbaSportsUpdates; Uganda Cranes 1 – 0 Democratic Republic of the Congo ggoolo eteebeddwa Patrick Kaddu mu ddakiika eye 14.
Omukama wa Tooro naye agenze okuwagira Uganda Cranes
Rukirabasaija Oyo Nyimba Kabamba Iguru Rukidi IV atuuse mu kibuga Cairo ekya Egypt okuwagira ttiimu y’eggwanga Uganda Cranes. Ono ayaniriziddwa Uganda head of delegation, Minisita Florence Nakiwala Kiyingi. Federation of Uganda Football Associations (FUFA)