Sports Update from Uganda
AFCON 2019 Egypt vs Zimbabwe
#SimbaSportsUpdates; Tosubwa Egypt nga eyambalagana ne Zimbabwe ku ssaawa ttaano ez’ekiro ku Simba. Tosubwa #AFCON2019
Empaka za Goat Race zitongozeddwa
#SimbaSportsUpdates; Empaka z’emisinde gy’embuzi – Goat Race zatongozeddwa olunaku lw’eggulo ku Kabira Country Club.
Ttiimu zisigadde 16 mu kikopo ky’abakyala eky’ensi yonna
#SimbaSportsUpdates; Ttiimu z’amawanga e 16 ezisigadde mu mpaka z’ekikopo ky’abakyala eky’ensi yonna ekya FIFA Women’s World Cup. Empaka ziddamu okuyinda nga ku lwomukaaga. #Pics Courtesy of Bleacher Report Football
Fernando Torres annyuse omupiira
#SimbaSportsUpdates; Eyaliko emunnyeenye ya Liverpool FC ne Chelsea Football Club Fernando José Torres Sanz aka Fernando 9 Torres – Fernando Torres annyuse omupiira ku myaka 35. Ono abadde asambira ttiimu ya Japan eya liigi ya J1 Sagan Tosu.
Uganda Cranes erambudde ekisaawe werina okusambira
#SimbaSportsUpdates; Ttiimu y’eggwanga eya Uganda Cranes wamu n’abakungu balambudde ekisaawe kya Cairo International Stadium okyekaanya obulungi n’oluvannyuma neboolekera ekisaawe kya Arab contractors mukutendekebwa.
Michel Platini akwatiddwa lwakulya nguzi
#SimbaSportsUpdates; Eyali Pulezidenti w’ekibiina ekitwala omupiira mu Bulaaya ekya UEFA Michel Platini akwatiddwa kubigambibwa nti yalya enguzi kukusalawo okuwa Qatar okutegeka ekikopo ky’Omupiira gw’ensi yonna eya 2022.
Uganda Cranes bataka e Egypt
Ttiimu y’eggwanga eya Uganda Cranes bataka mu kibuga Cairo wamu n’abakungu ba Federation of Uganda Football Associations (FUFA) okwetegera ekikopo kya #AFCON2019
Francesco Totti asiibudde AS Roma
#SimbaSportsUpdates; 👶 1976 – Azaalibwa mu Rome ✍🏻 1989 – Yegatta ku AS Roma 👕 1993 – Asamba omupiira ggwe ogusooka mu mujoozi ©️ 1998 – Afuulibwa Captain wa AS Roma 👋🏻 2016 – Awummula omupiira afuulibwa Director 🚪 2019 – Asiibula AS Roma mubutongole. Bwatyo Francesco Totti bweyakomekerezza ku AS Roma. 😢
Uganda Cranes 1 – 0 Ivory Coast
Ttiimu y’eggwanga eya Uganda Cranes ekubye Ivory Coast ggoolo 1 – 0. Bano babadde basamba gwakwegezaamu nga betegekera AFCON 2019 e Egypt. Ggoolo eteebeddwa Faruku Miya nga ebadde ya ppeneti.