Fixture ya Premier League 2019/20 efulumye

Algeria egobye omusambi waayo lwabusiwuufu bwampisa

Omutendesi wa Algeria Djamel Belmadi yavuddeyo n’agoba omusambi ku ttiimu y’eggwanga Haris Belkebla nga beteekerateekera okusamba ekikopo kya AFCON 2019 lwa busiiwufu bwa mpisa. Belmadi yannyonyodde nti okusbola okukuuma empisa mu basambi nga ky’ekikulu ekisinga. Kino kyaddiridde akatambi ka vidiyo Belkebla mweyalabikidde ku ‘Social Media’ nga alaga obutuuliro bwe. Wabula Belkebla yavuddeyo neyetonda nga agamba […]

Olukalala lw’abasambi ba Uganda Cranes abagenda okusamba AFCON lufulumye

Omutendesi wa ttiimu ya Uganda Cranes Sébastien Desabre kyaddaaki afulumizza olukalala lw’abasambi 23 abagenda okusamba mu kikopo kya AFCON 2019 e Egypt. Bano kuliko; Abasambi 4 basuuliddwa okuva nga 3 ku bbo basambira mu liigi y’eggwanga ate 1 yasamba ogw’ensimbi. Abasambi abasuuliddwa kuliko Sadam Juma (KCCA FC), Allan Kyambadde (KCCA FC), Charles Lukwago (KCCA FC), […]

Buddu ne Bulemeezi bubefuka leero

#SimbaSportsUpdates; Olwaleero Budde ne Bulemeezi bubefuka mu Masaza Cup 2019 mu kisaawe e Kasana Luweero. Ani akuba ani? Bonna bewera.

Bbeene aguddewo empaka z’amaato

Omutendera ogusooka ogw’amaato g’amasaza guwanguddwa; Buddu , Bugerere, Ssingo, Busujju , Mawokota ne Mawogola, bano boolesezza obukodyo mu kuwungula amaato mu maaso ga Ssaabasajja Kabaka e Nabugabo mu Buddu.

Real Madrid esonjodde Eden Hazard

#SimbaSportsUpdates; Real Madrid C.F. esonjodde omusambi wa Chelsea Football Club Eden Hazard 28, ku ndagaano ya myaka 5. Ono wakwanjulwa mu ttiimu eno nga 13 – 6 – 2019 nga amaze okukeberebwa abasawo.

Neymar wakusubwa Copa America

#SimbaSportsUpdates; Neymar da Silva Santos Júnior aka Neymar Jr wakusubwa okusamba mu kikopo kya Copa America 2019 olw’obuvune bweyafunye ku kakongovule Brazil bweyabadde esamba omupiira ogw’omukwano ne Qatar.

Ronaldo ateebye hat tricks mu bikopo eby’enjawulo

#SimbaSportsUpdates; Cristiano Ronaldo ateebye ggoolo 3 (hat-tricks) mu World Cup, Champions League, UEFA ne Nations League mu myezi 12 egiyise ku mitendera egy’enjawulo. 🎩

Luka Jovic aguliddwa Real Madrid

Luka Jović emunyeenye ya Serbia nga abadde muzannyi wa Club ya German Eintracht Frankfurt aguliddwa Club ya Real Madrid C.F. eya Spain obukadde bwa Pawundi 70 ku ndagaano yamyaka 6. Ono yazaalibwa 23 – Dec – 1997 nga wamyaka 21.

Uganda Cranes yeteekerateekera AFCON 2019

Ttiimu y’eggwanga eya Uganda Cranes ekyagenda mu maaso n’okutendekebwa wali mu Abu Dhabi nga tweteekerateekera emipiira gy’ekikopo kya Africa ekya Total African Cup of Nations Egypt.