Sports Update from Uganda
Babirye Kityo akomezeddwawo mu Kkooti
Pulezidenti w’ekibiina ekitwala omupiira gw’okubaka mu ggwanga ekya Uganda Netball Federation, Hon. Babirye Kityo Sarah aleeteddwa mu kkooti ya Buganda Road okwewozaako ku musango gw’okujja ku bantu ssente mu lukujjukujju wamu n’okuwulira okusaba kwe okwokweyimirirwa.
Pulezidenti wa UNF Babirye Kityo Sarah asindikiddwa ku alimanda
Omulamuzi wa Kkooti ya Buganda Road Siena Owomugisha yasindise ku alimanda Pulezidenti wa Uganda Netball Federation (UNF), Babirye Kityo Sarah ku alimanda mu Kkomera e Luzira ku bigambibwa nti alina beyagyako ssente mu lukujjukujju. Babirye ne Zainab Namutebi basimbiddwa mu Kkooti ku bigambibwa nti baggya ssente obukadde 16 ku bantu nga babasuubizza okutwala abaana baabwe […]
Ssaabasajja aguddewo empaka z’Ebika bya Buganda 2023
Emizira n’enduulu bibuutikidde ekisaawe kya Muteesa II e Wankulukuku Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II bwasiimye nalabikako eri Obuganda okuggulawo empaka z’omupiira gw’Ebika bya Buganda eza #bika2023.
Empaka z’Ebika bya Buganda zitandika lwaleero
Olunaku olwaleero empaka z’Ebika lwesitandika era nga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye okulabikako eri Obuganda okugiggulawo mu Mutessa II Stadium e Wankulukuku. Ekika kye Nkima be Ngabi e Nsamba byebiggulawo mu mupiira ogw’ebigere n’okubaka. Katikkiro Charles Peter Mayiga yatuuse dda mu Kisaawe. #BikaCup2023 #KabakaWange
Gor Mahia ekansizza Bannayuganda
#SimbaSportsUpdates Kiraabu Gor Mahia FC yakansizza abasambi okuva mu Yuganda okuli; Partrick Kaddu okuva mu Kitara F.C Hoima ne Shafiq Kagimu okuva mu URA Football Club. Bano bombi basambye olunaku lw’eggulo Kaddu nabateebera ggoolo 3 mu kitundu ekyokubiri Gor Mahia bweyabadde esamba ne Vihiga United.
FUFA ekoze enkyuukakyuuka ku ttiimu z’eggwanga
Omukulembeze w’ekibiina ekifuga omupiira ogw’ebigere mu Ggwanga ekya Federation of Uganda Football Associations (FUFA) Eng. Moses Magogo avuddeyo nalangirira enkyuukakyuuka ezikoleddwa ku ttiimu z’eggwanga ezomupiira; “Ebifo byonna ku Ttiimu z’eggwanga 10 bisigadde bikalu okuleka ku ttiimu ya Uganda Cranes. Okwekeneenya kwakulobwa ku bali mu bifo ku ttiimu ya Uganda Cranes nga bamaze okusamba empaka zokusunsulamu […]
Ogwa Uganda Cranes ne Algeria gwakusambirwa mu Namboole – Minisita Ogwang
Omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku by’ebyemizannyo, Peter Ogwang MP avuddeyo nagumya Bannayuganda nti omupiira ttiimu y’Eggwanga eya Uganda Cranes gwegenda okuddamu okusamba ne Algeria nga 12-June ejja kugusambira mu kisaawe ky’eggwanga ekya Mandela National Stadium – Namboole. Kinajjukirwa nti ekibiina ekitwala omupiira munsi yonna ekya FIFA kyagaana ekisaawe kye Namboole okuddamu okusambirwamu omupiira oguli ku […]
Greenwood agiddwako emisango
Kkooti mu Ggwanga lya Bungereza esudde emisango egibadde givunaanibwa omusambi wa Manchester United, Mason Greenwood 21, okuli ogwokugezaako okukwata omukazi, okumutiisatiisa, okumukuba namulumya ssaako nokulondoola okusukiridde.
Everton egobye Lampard
#SimbaSportsUpdates; Kkiraabu ya Everton Football Club egobye abadde Maneja Frank Lampard. Ono Kkiraabu wemugobedde ngeri mu kifo kya 19 nga mu mipiira 7 gyesambye esobodde okufunamu akabonero 1 kokka era ngeri mwezo ezinasalwako. Steve Bruce akirizza okutwala kkiraabu mu mipiira egisigaddeyo.