Ssaabasajja Kabaka aguddewo emipiira gy’Amasaza

Kitalo! Jose Antonio Reyes afiiridde mu kabenje

Kitalo! Eyaliko emunyeenye ya Arsenal Munnansi wa Spain José Antonio Reyes Calderón 35, afiiridde mu kabenje.

Pedro ateebye mu mpaka 6 ezakamalirizo

#SimbaSportsUpdates; Pedro Eliezer Rodríguez Ledesma aka Pedro ateebye mu mpaka ezakamalirizo 6; 2009 Super Cup 🆚 Shakhtar Donetsk 2009 Club World Cup 🆚 Estudiantes 2011 Champions League 🆚 Man Utd 2012 Copa Del Rey 🆚 Athletic Bilbao 2015 Super Cup 🆚 Sevilla 2019 Europa League 🆚 Arsenal. Bino n’ebirala byoba olindirira mu #SimbaLunchTimeSports ne Bruce […]

Arsenal ekubiddwa emirundi 4 gyetuuse ku finals mu bikopo bya Bulaaya

#SimbaSportsUpdates; Arsenal ekubiddwa emirundi gyonna 4 gyebatuuse ku mpaka ezakamalirizo mu bikopo eby’amaanyi 4 mu Bulaaya (European cup finals): ❌1995 Cup Winners Cup Final ❌2000 UEFA Cup Final ❌2006 Champions League Final ❌2019 Europa League Final. Giweze emyaka 25 egiyise okuva lwebawangula ekikopo eky’amaanyi mu mpaka zabulaaya.

Chelsea ewangudde ekikopo kya Europa

#SimbaSportsUpdates: Bwetyo Chelsea Football Club ekubye Arsenal ggoolo 4 ku 1 bwetyo newangula ekikopo Kya Europa. HT: Chelsea 0-0 Arsenal. 49′: Chelsea 1-0 Arsenal. 60′: Chelsea 2-0 Arsenal. 65′: Chelsea 3-0 Arsenal. 69′: Chelsea 3-1 Arsenal. 72′: Chelsea 4-1 Arsenal. Europa Cup Finals

Hazard wakwabulira Chelsea

Eden Hazard kyaddaaki akakasizza nga bwagenda okwabulira Chelsea Football Club

Ttiimu y’eggwanga eya Uganda Cranes ekubye enkambi e Dubai

Ttiimu ya Yuganda ey’omupiira gw’ebigere eya Uganda Cranes wamu n’omutendesi Seb Desabre nga baniirizibwa n’amazzi olunaku lw’eggulo ku kisaawe kya Sheikh Zayed Cricket Stadium mu Abu Dhabi Cricket Complex. Tttimu y’eggwanga eri mukutendekebwa nga yetegekera ekikopo ky’amawanga ga Afirika ekya AFCON 2019.   Federation of Uganda Football Associations (FUFA)

Enteekateeka z’amaato zeyongedde amaanyi

Arsenal esimbudde okugenda mu Azerbaijan

Ttiimu ya Arsenal FC eyolekedde ekibuga Baku mu Azerbaijan okweteekerateekera omupiira ogwakamalirizo mu UEFA Europa League nga eyambalagana ne Chelsea Football Club ku lunaku olw’okusatu.

Empaka z’amasaza ez’omwaka guno 2019 zitongozeddwa

Empaka z’amasaza ez’omwaka guno 2019 zitongozeddwa mu butongole. Omumyuka wa Katikkiro asooka era Minisita w’enzirukanya y’emirimu n’obuyiiya Prof. Twaha Kigongo Kaawaase yazitongozezza. Owek Kaawaase asabye abakulembeze b’omupiira gw’amasaza ku buli mutendera okwewala okugootaanya empaka zino kisobozese okukulaakulanya empaka z’amasaza okutuuka ku mutendera ogwa waggulu. Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye okuggulawo empaka zino nga […]