Sports Update from Uganda
IGP awadde abaddusi ba Poliisi emotoka
Omuduumizi wa Uganda Police Force IGP J.M Okoth-Ochola, olunaku lw’eggulo yakwasizza abasirikale ba Poliisi abaddusi b’emisindi emotoka enabayamba nga ku byentambula. Omukolo gwabadde ku kitebe kya Poliisi e Naguru.
IGP Ochola akuzizza abasirikale ba Poliisi abawangula emiddaali mu misinde e Tokyo
Omuduumizi wa Uganda Police Force IGP Martins Okoth Ochola olunaku olwaleero wakukuza abaddusi ba Poliisi bonna abawangulira Yuganda emiddaali mu mizannyo gya Olympics e Japan omwaka guno ng’omukolo guli ku kitebe kya Poliisi e Naguru. Bano bakulembeddwamu Joshua Cheptegei.
Kitalo eyaliko omutendesi wa Rugby Cranes afudde
Kitalo! Eyaliko omutendesi era kkapiteeni wa ttiimu y’eggwanga eya Uganda Rugby Cranes, Robert Sseguya aka Soggy afudde ku myaka 43. Ono obulwadde obumusse ye kkookolo w’omusaayi.
Omubaka Zaake awangudde emisinde mu Arusha
Ababaka ba Palamenti aba Yuganda beriisizza nkuuli mu mpala ezigenda mu maaso mu Arusha. Omubaka MP Zaake Francis Butebi yawangudde emisinde egya mita 100, Hon. Mbwatekamwa nawangula ezamita 400 ne 1500. Phiona Nyamutoro yawangudde eza mita 100 ne 200. #eacgamesarusha #EACGAMESARUSHA
Golola owedde, omusudani yewera
Omukubi w’ensambaggere Munnansi wa South Sudan James Majok Geu mu ‘training’ nga yetegekera olulwana lwokuddiŋŋana ne Golola Moses mu December 2021 mu Kampala.
Poliisi ne UPDF bakubye abasambi b’omupiira emiggo e Moyo
Amawulire agava mu Disitulikiti y’e Moyo galaga nti waliwo abasambi b’omupiira 3 wamu n’omu ku bakungu batiimu abakubiddwa abasirikale ba Uganda Police Force ne UPDF mu kiro oluvannyuma lw’emotoka yaabwe okubafaako bwebabadde bava mu Disitulikiti y’e Maracha gyebabadde bagenze okwetaba mu mpaka za Regional Women Football Cup Tournament. Poliisi egamba nti bano babadde batambulira mu […]
FUFA Ethics Committee ebonerezza omutendesi wa Police FC
Akakiiko k’ekibiina ekitwala omupiira ogw’ebigere mu Ggwanga ekya Federation of Uganda Football Associations (FUFA) akakwasisa empisa aka FUFA Ethics and Disciplinary Committee kaweesezza engasi omutendesi wa Uganda Police Football Club Abdallah Mubiru ya bukadde 2 olwebyo byeyayogera oluvannyuma lw’omupiira gwebasamba ne ONDUPARAKA FOOTBALL CLUB wamu n’okuvuma ‘Match official’. Agaaniddwa okwenyigira mu muzannyo gw’omupiira okutuusa nga […]
Bannabulemeezi bakubiriziddwa okwetaniranga enteekateeka z’Obwakabaka bwa Buganda
Bannabulemeezi bakubiriziddwa okwetaniranga enteekateeka z’Obwakabaka bwa Buganda wamu n’okujjumbira ebigenda mu maaso okulaba nga bazza Buganda kuntikko. Bino byogeddwa Abaami ba Ssaabasajja aba Magombolola agenjawulo okuva mu ssaza ly’e Bulemeezi nga bakulembeddwamu mituba 10 Ronald Kasule Balagadde bwabadde yetabye mu misinde gy’amazaalibwa ga Beene . Mubaddusi abeetabye mu misinde gyamazaalibwa ga Kabaka ag’omulundi guno, mwemubadde […]
Ole Gunnar Solskjær agobeddwa
Ttiimu ya Manchester United evuddeyo netegeeza nga abadde Maneja Ole Gunnar Solskjær bwakwatiddwa ku nkoona. Bagambye nti newankubadde abadde agezezzaako okuzimba ttiimu myaka 3 egiyise naye wiiki eziyise tezibadde nnungi. Kkiraabu erangiridde Michael Carrick nga agenda okugira nga atambuza ttiimu mu mipiira egiddako nga bwebanoonya Maneja anadde mu bigere bya Ole.