Uganda Cranes egenze Morocco okusamba ne Mali

Uganda Cranes 1-1 Harambee Stars Kenya

Omupiira wakati wa Uganda Cranes ne The Harambee Stars Kenya guwedde ggoolo 1 ku 1. FT Uganda 1-1 Kenya (*Bayo) (*Olunga)

Omutendesi wa Daniel Farke agobeddwa

#SimbaSportsUpdates; Kkiraabu ya Norwich City FC evuddeyo nerangirira nga bwegobye omutendesi waayo Daniel Farke. Bagamba nti bamukutte ku nkoona olwokuba baagala mutindo n’obuwanguzi. Ono webamugobedde nga bakawangula kkiirabu ya Brentford FC ggoolo 2 ku 1 nga bali mu kifo kyamakumi abiri (esembye) ku kimeeza kya Premier League.

Micho emisango gyemusse mu vvi

Omutendesi wa ttiimu y’eggwanga eya Uganda Cranes Milutin Sredojevic aka Micho olunaku olwaleero asingisiddwa omusango gwa sexual assault. Munnansi wa Serbia avunaaniddwa mu Kkooti ya Gqeberha Regional, e South Africa, olwaleero era nasingsibwa emisango ebiri. Micho ekibonerezo kyalina okufuna kyakusibwa emyaka 3 wamu n’obutenyigira mu byamizannyo okumala emyaka 5. Bannamateeka be basabye bakirizibwe okujulira. Okusinziira […]

Omuddusi Tirop asangiddwa nga afudde

#SimbaSportsUpdates; Agnes Tirop eyaddukira eggwanga lya Kenya mu misinde egyamita 5000 egyabakyala Tokyo 2020 Olympics asangiddwa mu nnyumba ye e Iten, Elgeyo Marakwet County; nga afudde. Ono asangiddwako ebiwundu ku lubuto.

Micho afulumizza ttiimu egenda okwambalagana ne Rwanda

#SimbaSportsUpdates; Omutendesi wa ttiimu ya Yuganda ey’omupiira ogwebigere eya Uganda Cranes Milutin Sredojevic aka Micho afulumizza olukalala lw’abazannyi 25 abagenda okusambira Uganda ngeyambalagana ne Amavubi Stars eya Rwanda mu mipiira 2 mu mpaka za FIFA World Cup 2022 Qatar nga 7 ne 10 October 2021. Ttiimi ya Yuganda esimbula lwaleero ku ssaawa 4 ezekiro ku […]

Kitalo! Hajji Kakaire afudde

Kitalo! Eyaliko Pulezidenti w’ekibiina ekitwala omupiira ogw’ebigere mu Ggwanga ekya Federation of Uganda Football Associations (FUFA) owa 24 Hajji Twaha Kakaire afudde. #SimbaSportsUpdates #SimbaNews

Katikkiro Mayiga asisinkanye Tiimu yeggwanga ey’omuzannyo gw’ensero

Katikkiro Charles Peter Mayiga asisinkanye Tiimu yeggwanga ey’omuzannyo gw’ensero (Silverbacks) nabeebaza okukiikirira obulungi eggwanga mu mpaka za Afrobasketball ezaali e Kigali Rwanda gyebaamalira ku mutendera gwa quarter finals. Bakulembeddwamu Mw. Nasser Sserunjogi, Omukulembeze wekibiina ekitwala omuzannyo guno mu ggwanga ekya Federation of Basketball Association. Kamalabyonna Asibiridde abazannyi entanda eyokubeera nempisa ng’emu ku mpagi ezijja okubayamba […]

MUGENDE MUBIZANNYIRE AWALALA – RWANDA

Empaka za 2021 African Women’s Senior Nations Volleyball Championship teziwedde oluvannyuma lw’ekibiina kya Rwanda Volleyball Federation ne Rwanda Ministry of Sports okuziyimiriza mbagirawo. Ekibiina ekitwala omuzannyo gwa Volleyball mu Rwanda kyawadde ttiimu zonna essaawa 24 okwamuka eggwanga. Obuzibu bwavudde ku kibiina ekitwala omuzannyo gwa Volleyball mu nsi yonna ekya Federation Internationale de Volleyball, FIVB okugoba […]

OMUSAMBI WOMUPIIRA AMAZE EMYAKA 39 MU COMMA AFUDDE

Kitalo! Eyaliko omusambi wa Bufalansa Jean-Pierre Adams 73, afudde olvannyuma lw’emyaka 39 mu comma. Adams yatwalibwa mu ddwaliro okulongosebwa evviivi mu March 1982 wabula teyadda ngulu oluvannyuma lwokukola ensombi mu ddagala eryamukubwa okumusirisa. Adams nga nzaalwa y’e Senegal, yali muzibizi nga yasamba emipiira 140 nga asambira Nice era yasambirako ne Paris St-Germain. Olunaku Adams lweyagenda […]