Gen. Kayihura adduse kiromita 16 okusiima abawangudde emiddaali

Peruth Chemutai awangudde omuddaali ogwazzaabu

Munnayuganda omuddusi w’emisinde Peruth Chemutai 22, awangudde omuddaali ogwazaabu mu Mpaka ezamita 3,000 mu steeplechase mu Tokyo 2020 Olympics e Japan.

Micho alonze bagenda okukola nabo

Omutendesi wa Ttiimu y’Egggwanga eya Uganda Cranes omuggya Micho alonze Livingstone Mbabazi ng’omuyambi we asooka ne Fred Kajoba ngomutendesi wabakwasi ba ggoolo. Agamba nti abatendesi bano balonze tebajja kubeera nakakwate ku ttiimu yonna eyomupiira mu Ggwanga. Bano kwegasseeko Ivan Ssewanyana (Physiotherapist) ne Geofrey Massa (Team manager). #UnveilingMicho

Winnie Nanyondo akutte kyakubiri

Omuddusi w’emisinde Munnanyuganda Winnie nanyondo akutte kyakubiri mu mpaka zemisinde ezabakyala ezamita 1500 wali mu Tokyo 2020 Olympics. Ono addukidde 4:02.24 nga adiridde Munnakenya Faith Kipyegon. Ono ayiseemu okugenda ku mpaka ezidirira ezakamalirizo ezinabaawo ku lwokusatu lwa wiiki eno. AFP

Chemutai akutte kyakubiri mu misinde e Tokyo

Munnayuganda omuddusi w’emisinde Peruth Chemutai mu kiro ekikeesezza olwaleero akutte ekifo kyakubiri mu misinde gy’Abakyala egya mita 3000 steeplechase. Ono agenze ku Mpaka ezakamalirizo ezokubeerawo ku lwokusatu ku ssaawa munaana ezomuttuntu. Ono addukidde eddakiika 9:12.72.

Nannyondo akutte kyakubiri mu misinde

Munnayuganda omuddusi w’emisinde Winnie Nanyondo yamaliddeko mu kifo kyakubiri okwesogga empaka ezidirira ezakamalirizo mu mita 800 ezijja okubeerawo nga 31-July ngadukidde eddakiika 2:02.02 ngadiridde Munnansi wa France Rénelle Lamote 2.01.91 mu mizannyo gya Tokyo 2020 Olympics e Japan. 📷 Reuters

Micho alondeddwa ngomutendesi wa Uganda Cranes

Ekibiina ekitwala omupiira ogwebigere mu Ggwanga ekya Federation of Uganda Football Associations (FUFA) kirangiridde eyaliko omutendesi wa SC Villa ne Uganda Cranes Milutin Sredojević aka Micho ngomutendesi omuggya owa Tttimu yeggwanga okutandika nga 1 – August 2021 okutuusa 2024.

POLIISI EYIMBULE SSEKITOOLEKO AWATALI KAKWAKULIZO KONNA

Bannamateeka ba Wamala and Co Advocates bavuddeyo nabaddukira mu Kkooti Enkulu mu Kampala nga baagala ewalirize Uganda Police Force eya Jinja Road eyimbule omusituzi w’obuzito Julius Ssekitooleko abadde mu nkomyo okuva nga 23 – July nokutuusa olwaleero. Bannamateeka okuli Geoffrey Turyamusiima ne Phillip Munaabi baagala Kkooti Enkulu eragire Poliisi okuyimbula Ssekitooleko awatali kakwakkulizo konna kuba […]

Man U ekansizza Jadon Sancho

Manchester United ekansizza Jadon Sancho 21, ku ndagaano egenda omukuumira mu ttiimu eno okumala emyaka ettaano ku bukadde bwa Pawundi 73. Sancho avudde mu kkiraabu ya Broussia Dortmound.

MAAMA WA SSEKITOOLEKO AYOGEDDE, OMWANA YABADDE AYIIYA MBEERA

Maama wa Julius Ssekitooleko, omusituzi w’obuzito eyabula okuva mu nkambi e Japan, Juliet Nalwadda avuddeyo nategeeza Bannamawulire nti Mutabani we yali agezaako kuyiiya bulamu asobole okuyimirizzaawo famire ye. Nalwadda agamba nti ono abadde talina wabeera nga ate alina omukyala ow’olubuto. Kigambibwa nti Ssekitooleko e Japan yasangiddwa e Mie Prefecture nga talina buvune bwonna yadde okwenyigira […]