CID ekutte omusajja abadde afera abantu

Ekitongole kya Uganda Police Force ekikola ku kunoonyereza ku misango ekya Directorate of Criminal Investigations (CID) olunaku lw’eggulo kyakutte Omoko Emmanuel Ricky 32, ku bigambibwa nti abadde yenyigira mukujja ku bantu ssente nga yeyita kyatali. Nga 5-June Opio Vincent Otok yavaayo neyemulugunya nti Omoko nga yeyita omusirikale wa Poliisi akola ku kitebe kya CID yamuggyako 1,965,000/= nga amusuubizza okumutaasa obutatwalibwa mu kakiiko akanoonyereza ku bukenuzi n’obuli bw’enguzi aka Anti Corruption Unit – State House Uganda.

Opio yali wakulabikako mu Kakiiko kano okuyamba okunoonyereza kubigambibwa nti Kkampuni ye epangisa emotoka n’okuyamba mu ntambula yakozesebwa mu mivuyo gy’obukenuzi n’obulyake oguvunaanibwa eyali Town Clerk wa Nansana Otwok Jimmy.

Omoko yamuweebwa Counsel Kibwanga Makmot mu maka ge agasangibwa mu Minister’s village e Ntinda oluvannyuma lw’okumamatiza nti yali wakumuyamba.

Ono okukwatibwa yabadde agenze kukima nsimbi ndala olw’okutgeeza nti yabadde yetaaga ssente okwongera okukola ku nsonga eyo nga kwatadde n’okumutiisatiisa era nga bamukwatidde Kinawataka mu Divizoni y’e Nakawa.

Mukumonooyerezaako kyazuuliddwa nti Omoko Emmanuel Rick yali musirikale wa Poliisi eyagyeyungako mu 2015 era nafuluma nga Probationer Police Constable mu 2017 wabula mu 2018 nadduka mu Poliisi olw’emisango gyeyalina emingi okwali n’okufera obukadde 60 okuva ku musirikale w’eggye lya Uganda Peoples’ Defence Forces – UPDF.

Leave a Reply