Director of Public Prosecution, Lady Justice Jane Frances Abodo, avuddeyo nasiima akulira ekitongole kya bambega, Maj. Tom Magambo, olwengeri gyeyakwatamu ensonga y’amabaati mu bwangu mu bbanga eritasukka mwezi gumu.
Wabula amwetondedde olwokulwisaawo emisango gino nategeeza nti kyava ku ye Abodo okulwisaawo okwekeneenya fayiro zabawawabirwa.
Abodo annyonyodde nti okulwisaawo fayiro zino kwali kwetaagisa kuba baalina okuzuula buli muntu eyenyigira mu kibba mabaati nekirala nti abaali bavunaanibwa baali banene mu Ggwanga.
Bya Christina Nabatanzi
#ffemmwemmweffe
CID mwebale omulimu gwemwakola ku babbi b’amabaati – Justice Abodo
