Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ayisizza amannya g’abantu 81 nga bano bebagenda okuweebwa emiddaali ku lunaku lw’abazira ku lwokuna lwa wiiki eno.
Okusinziira ku kiwandiiko ekifulumiziddwa Omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa kukulondoola emirimu gya Gavumenti Peter Ogwanga agamba nti abantu 34 bebagenda okufuna emiddaali gya 50th anniversary golden jubilee medal, 17 baakufuna Nalubaale, 18 baakufuna Luweero triangle, 2 baakufuna long service silver police n’abalala 2 honorary medals.
Mu bano abagenda okuweebwa emiddaali mwemuli n’omwogezi wa Uganda Police Force CP Fred Enanga.
Abalala kuliko Joel Kakira eyawaayo ettaka eri Gavumenti okwazimbiwa eddwaliro lya Mabere Health Center III mu Disitulikiti y’e Sheema. Omulala ye Tom O’lalobo, eyali Pilot ngabonga ennyonyi ya DC-19.