Waliwo Crime Preventer agombeddwamu obwala mu Disitulikiti y’e Kayunga nga ateeberezebwa okukkira omwana n’amugogombola obugoggo era n’amufunyisa n’olubuto.
George Bahiya nga atemera mu gy’obukulu 40 nga ono abadde okolera mu Police Station ey’e Kayunga, agambibwa okubanga yakkidde omwana ow’emyaka 17 n’amutunuza mu mbuga ya Sitaani. Kato Vincent omusasi waffe atutegeezezza nti abatuuze mu Kayunga bagamba nti omusajja ono guno ssigwemulundi ogusoose okukola bino era nga ne bakaabasajja tabataliza.