Akakiiko akalwanyisa obuli bw’enguzi n’obukenuzi okuva mu maka g’Omukulembeze w’Eggwanga aka Anti Corruption Unit – State House Uganda nga kali wamu n’ebambega ba Uganda Police Force ne DPP batutte omumyuuka wa RDC owa Disitulikiti y’e Rukiga Kamuntu Ssemakula Ivan a.k.a Majambere, mu Kkooti y’Omulamuzi ow’e Gomba navunaanibwa omusango gwokubba ettaka.
Majambere, ngali wamu n’abantu abalala abatanakwatibwa bavunaanibwa omusango gwokwekobaana okufera, okubba ente wamu n’okusalimbira mu ttaka lyomuntu.
Kigambibwa nti mu August 2023, Majambere ne banne bawamba ettaka okuli ffaamu eriweza yiika 300 ku Block 75, Plot 2 mu Disitulikiti y’e Gomba nga lya Frank Rushanganwa 75. Mzee Rushanganwa alina ekyapa ky’ettaka lino kyeyafuna mu 2003.
Bwebaali batwala ettaka lino kigambibwa nti Majambere ne banne babba ente 157 ezibalirirwamu obukadde 318 nebazitwala mu kifo ekitategeerekeka. Majambere agamba nti yagula ekitundu ku ttaka lino mu 2020 ne munne bwebavunaanibwa Mwesigye eyagamba nti yagula ettaka lyonna mu 2018 wabula nalemererwa okulaga obukakafu nti yaligula. Bano bagenda mu maaso nebakutula mu ttaka lino poloti era nebaziguza abantu.
Mu March wa 2024, Kkooti yayise ekiragiro ekigoba munne wa Majambere amanyiddwa nga Amos Mwesigye ku ttaka lino wabula bano basigala batiisatiisa nannyini ttaka Rushanganwa. Majambere yasindikiddwa ku alimanda okutuusa nga 3/12/2024.