Ddereeva eyingiridde convoy ya CDF

Omwogezi w’eggye lya UPDF Brig. Felix Kulayigye avuddeyo nategeeza nga abasirikale b’eggye lya UPDF abakuuma omuduumizi w’eggye (Chief of Defence Forces) Gen. Wilson Mbasu Mbadi bwebakubye amasasi loole eyayisizza emotoka ekulembera oluseregende ate netomera emotoka ye. Bino byabaddewo ssaawa ttaano n’ekitundu ezekiro olunaku lw’eggulo bweyabadde ava e Mbuya.
Okusinziira ku Kulayigye agamba nti bakubye emipiira gyayo negituula oluvannyuma neyimirira era ddereeva nebamukwasa Uganda Police Force, bwebamukebedde nebakizuula nti yabadde atamidde era yasangiddwa n’obitundu 89 ku 100 ebyomwenge. Ono wakutwalibwa mu Kkooti avunaanibwe.
Leave a Reply