Ddereeva w’essiga eddamuzi Stanley Kisambira, eyawulirwa mu katambi ngayogera ku musaala omutono gwafuna avunaaniddwa omusango gwotambuza obubaka obusiga obukyaayi era nasindikibwa ku alimanda mu kkomera e Luzira okutuusa nga 2 June.
Kisambira 46, asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka owa Kkooti ya Buganda Road Fidelis Otwao amusindise ku alimanda.
Omulamuzi ategeezezzanti nga 12-May-2023, Kisambira ngali mu Ggwanga Yuganda yaweereza obubaka obw’eddoboozi ku WhatsApp Group ya Judiciary nga agezaako okusiga obukyaayi eri Abalamuzi ngagamba nti bafuna omusaala omunene ennyo ogusinga ogwaba Ddereeva baabwe ekitali kyabwenkyanya nti era Ddereeva ayinza okusalawo okukola akabenje natta omulamuzi n’abakuumi be.
Kisambira omusango agweggaanyi, era nasindikibwa ku alimanda okutuusa nga 2-June lwanasimbibwa mu maaso g’omulamuzi atandike okuvunaanibwa atabaddeewo leero.