Ensimbi obuwumbi bubiri mu obukadde lunaana mu nkaaga mu buna mu emitwalo ataano mu esatu mu enkumi nnya mu kikumi mu kkumi na nnya (2,864,534,114) zezeetaagibwa Disitulikiti y'e Mubende okujjuza ebifo ebikumi bitaano mu ttaano (505) mu kiseera kino ebyereere ebitaliimu bakozi.
Akulira abakozi e Mubende (CAO) Nakamatte Lillian ategeezezza nti ekizibu ky'ebbula ly'abakozi abawerera ddala 505 kiviiriddeko emirimo okusannyala mu Disitulikiti eno era nga kibeetagisa ensimbi 2,864,534,114 okubeera nga basasula emisaala gyabwe ezitaliiwo mu kiseera kino.
Nakamate annyonnyodde nti ebifo ebyereere kuliko abakulira amasomero 16, abamyuka abakulira amasomero 75, Senior Education Assistant 23 , abasomesa 134, abasawo 26, abemiruka 26 ne ba kkalani 28.
Nakamatte agasseeko nti bano nga ogasseeko n'abalala bakola omuwendo gwa bantu 505 bw'atyo kwe kuwanjagira Minisitule ya Gavumenti ez'ebitundu okubadduukirira.