Ab’ekibiina kya Democratic Party bakkirizza nti baawanguddwa mu kalulu akaakubiddwa okulonda omubaka omukyala anaakiikirira Disitulikiti y’e Omoro mu Lukiiko lukulu olw’eggwanga nga kaawanguddwa wa kibiina kya NRM .
Okulonda mu zi Disitulikiti empya ezaatondebwawo omuli; Kagadi, Kakumiro, Rubanda ne Omoro kwabaddewo eggulo nga balonda ababaka mu Palamenti , ba Ssentebe ne ba Kkansala.
Mu Disitulikiti y’e Omoro eyakwatira DP bendera Pamella Lanyero yawanguddwa owa owa NRM Catherine Lamwoka n’addirirwa owa FDC olwo n’abalala nebagoberera .
Ng’ayogera mu lukungaana lwa Bannamawulire enkya ya leero ku kitebe kya DP ekisangibwa ku City Gouse mu Kampala, Keneth Paul Kakande agamba nti baawanguddwa mu kalulu kano newankubadde nga keetobeseemu okugulirira abalonzi , okubatiisatiisa n’ebirala .
Wabula Kakande anenya ab’oludda oluvuganya Gavumenti olw’enjawukana ezibalemesa okusimbawo omuntu omu mu mbeera ng’eno .