Ab’ekibiina kya Democratic Party bawakanya ne ssekuwakanya yenna ekya woofiisi y’omukulembeze w’eggwanga okusaba obuwumbi bwa ssente za Yuganda musanvu (7bn) okuddaabiriza amaka g’obwa Pulezidenti .
DP egamba nti kuno kudiibuuda nsimbi ya muwi wa musolo mu bintu ebitaliimu nga tebirina kyebiyamba bannansi abasasula emisolo naddala mu kiseera kino nga ensimbi ya kaweereege ng’eddya ly’obukadde .
Bano bagamba nti sente ezo zisaanye okuteekebwa mu bintu ebitumbula embeera za bannansi, omuli ; Eby’obulamu, eby’e njigiriza , eby’entambula wamu n’ebirala njolo .
Okutuuka ku bino, Omwogezi w’ekibiina kino Keneth Paul Kakande abadde mu lukungaana lwa Bannamawulire enkya ya leero wali ku kitebe ky’ekibiina ku City House mu Kampala .