President General wa DP Nobert Mao yeerayiridde okuwakanya ekyasaliddwawo ba Memba ba NRM abali mu Lusirika lwabwe e Kyankwanzi eky’okwongeza ekisanja kya Gavumenti okuva ku myaka etaano okutuuka ku myaka 7 .
Mao era agamba nti ayaniriza enteekakeeteka y’enteeseganya ez’emirembe wakati w’oludda oluvuganya ne Gavumenti naye ng’abatabaganya tebalina kyekubiira .
Bino abyogedde bw’abadde mu lukunngaana lwa bannamawulire mu Kampala ku City House ku kitebe ky’ekibiina .