DP yesunga kulaba museveni lwagenda

Ssenkaggale wa DP Norbert Mao yayatulidde Ssentebe wa NRM era omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni, nga bo banna DP bwebeesunga okumulaba nga atudde ku mukola ogw’okulayiza omukulembeze we ggwanga nga si yye.
Kyokka mukwanukula, Museveni yategeezezza nti Mao by’ayogera biyinza okumujja ku mulamwa ogwamuleeta mu by’obufuzi. Bino byabadde mu lukungaana ttaba-bibiina bya bufuzi ebiri mu mukago gwa IPOD, ogutaba ebibiina ebikiirirwa mu Palamenti.
Ttaba-bibiina ono yategekeddwa okwogera ku bisomooza enkola y’ebibiina by’obufuzi mu Ggwanga. Eno buli omu yayatulidde munne.

Leave a Reply