Eyaliko omwogezi era Chief Politica Commisar wa Uganda Police Force Rtd. AIGP Asan Kasigye, avuddeyo ku mukutu gwe ogwa X nalaga obutali bumativu bwe eri DPC wa Kira Road Police Division Tyson Rutambika ggwagamba nti asusse okumusojja oluwonzi. Kasingye agamba nti abadde akigumidde ebbanga naye kisusse.
Kasingye agamba nti Rutambika atiisatiisa abakozi be mu kkampuni y’obukuumi eya Tayari Security Services.
Ono amusabye ebigambo ebitiisatiisa byagamba ba Supervisor ba Tayari aveeyo abimugambe butereevu.