Dr. Florence Namulwana Nsubuga Bwanika, Mukyala w’Owekitiibwa Christopher Bwanika, aziikiddwa

Dr. Florence Namulwana Nsubuga Bwanika, Mukyala w’Owekitiibwa Christopher Bwanika, aziikiddwa ku kyalo Mende e Wakiso mu Busiro.
Bishop Micheal Ssenyimba yakulembeddemu okusaba.
Obubaka bwa Kabaka busomeddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga, Ssaabasajja agambye bwati;
“Obubaka obumbikira Mukyalawo omwagalwa Dr. Florence Namulwana Nsubuga Bwanika nabufunye, kitalo nnyo, tukusaasidde nnyo nnyini olw’okufiirwa mukwano gwo akubadde ku lusegere era nga akuyamba mu buli nsonga. Mu ngeri yeemu tusaasira abaana olw’okufiirwa Maama alwalidde ebbanga ettono ddala.
Omugenzi wamutwanjulira emirundi egiwerako era twalaba ekisa n’obuntubulamu byabadde nabyo, kyakusaalirwa nti afiiridde mu kiseera ekizibu nga embeera tesobozesa ku musiibula nga bwekisaanidde.
Twebaza Katonda olw’ebirungi byonna byamusobozesezza okukola. Mukama akusibe ekimyu mu kiseera kino eky’obuyinike era akuwe amaanyi n’obuvumu okuyita mu mbeera eno enzibu”.
Okuziika kwetabiddwako, Omulangira David Kintu Wasajja, Omumyuka wa Katikkiro ow’Okubiri era Minisita w’ebyensimbi n’okuteekerateekera Obwakabaka, Baminisita ba Kabaka, Katikkiro eyawummula Eng. JB Walusimbi, abakiise mu Lukiiko lwa Buganda, Ba Ssenkulu b’ebitongole by’Obwakabaka, abaweereza b’obwakabaka, abakungu ba Gavumenti ya wakati, n’abalala.
Dr. Florence yafudde kirwadde kya Covid19, era Katikkiro wano wasinzidde naakubiriza abantu okukyekuuma.
Leave a Reply