Omubiri gwa Ssaabalabirizi eyawummula Dr. Livingstone Mpalanyi Nkoyooyo ( 1938 – 2017) gugalamiziddwa mu nnyumba yaagwo ey'olubeerera akaawungeezi aka leero mu kifo ky'ebyafaayo ku kiggwa ky'abajulizi Abakulisitaayo e Nakiyanja Namugongo.
Dr. Nkoyooyo aziikiddwa mu bitiibwa bya Gavumenti era nga yeekoze ku maziika gwe olw'ebirungi enjolo byeyakolera eggwanga, aziikiddwa abantu abakukunavu bangi mu gganga okuva mu Gavumnenti eya wakati wamu ne ey'e Mengo, Bannaddiini n'abantu abalala nkuyanja .
Weeraba Dr. Livingstone Mpalanyi Nkoyooyo …..Ky'ekigambo ekibadde kyegerwa