Dr. Ssentanda erinnya Kinyamatama waliwulira wa nga mu katambi mulimu Kyamatama? – Munnamateeka Lukwago

Bannamateeka b’Omubaka wa Mityana Municipality Munnakibiina kya National Unity Platform MP Zaake Francis Butebi banenyezza abakugu okuva ku Ssetendekero wa Makerere mu kitongole ky’ebyennimi olwokuvvuunula obubi ebigambo ebyayogerwa Omubaka Zaake mu katambi okubizza mu Lungereza.
Kino kyaddiridde Dr. Medard Ssentanda okusaba ekiwandiiko ekyasooka okuwebwayo ekyali kyoleka ebigambo ebyayogerwa Hon. Zaake okuva mu katambi akaweebwayo Omubaka omukyala owa Disitulikiti y’e Rakai Juliet Kinyamatama byagamba nti byali bimutyoboola ng’omukyala kisazibwemu.
Dr. Ssentanda, nga Senior Lecturer mu Department of African Languages mu Makerere University, yakirizza nti yakola ensobi bweyavvuunula ebigambo ebyali mu katambi nawandiika ‘selling her body’ mu kifo kya ‘selling herself’. Bannamateeka ba Hon. Zaake bakizudde nti okuvvuunula okwakolebwa kwayoleka bwa malaaya ensobi Dr. Ssentanda gyeyakirizza nategeeza nti kino kyava ku budde obutono obwamuweebwa okuvvuunula ebigambo ebyali mu katambi nga akatambi kamuweebwa ssaawa kumi nabbiri ezolweggulo nga baali babyetaaga ssaawa ssatu ezokumakya enkeera.
Munnamateeka Erias Lukwago yasabye Dr. Ssentanda annyonyole; “Okiriza nti wakola ensobi bwewavvuunula nti ‘she is always there at Parliament as if selling her body, kwekyuusa nogamba nti ‘as if she is selling herself?’ Ggwe avunaanyizibwa ku kukakasa omutindo ate nokola ensobi ngeyo? Erinnya Kinyamatama waliwulira wa mu katambi, kuba oli mu katambi ayogera ku Kyamatama?”

Leave a Reply