Ssentebe w'akakiiko k'ebyokulonda mu NRM, Dr. Tanga Odoi agambye nti tagenda kwetondera n'akatono kokka Ssaabawandiisi w'ekibiina kino Justine Kasule Lumumba nga abamu ku ba Ssentebe ba NRM aba zi Disitulikiti bwebaabadde basazeewo .
Bino bibadde mu nsisinkano ebaddewo akawungeezi ka leero ku Katikati Restaurant e Lugogo era nga wano ba Ssentebe ba zi Disitulikiti babadde basazeewo nti Dr. Tanga Odoi agwanidde okulekulira mu kakiiko k'ebyokulonda oba ssi ekyo yeetondere mangu Ssaabawandiisi w'ekibiina kino Justine Kasule Lumumba olw'ebyo byeyayogera gyebuvuddeko.
Wabula Tanga bw'abadde ayogera ne Bannamawulire ku yafeesi z'akakiiko k'ebyokulonda wali ku luguudo lwa Kyaddondo mu Kampala agambye nti kikafuuwe okwetondera Justine Kasule Lumumba era n'agamba nti ayagala bamuwandiikire bamulage n'ensonga lwaki agwanidde okulekulira bw'aba teyeetonze.
Bw'avudde awo n'agamba nti ba Ssentebe bano kirabika baatuuse okwekkiriranya kubanga waliwo eyabawadde emitwalo gya ssiringi makumi ana ana bagende nga bamwogerako ebijweteke.