Aboobuyinza mu Disitulikiti y’e Kayunga baweze eby’okutambuza ebisolo ekiro naddala mu biseera bino ebyennaku enkulu.
Kato Vincent agasakira Luboggola e Kayunga agamba nti kino kikoleddwa nga omu ku kaweefube w’okukendeeza obubbi bw’ebisolo mu biseera by’ennaku enkulu.
Okusinziira ku RDC w’e Kayunga, Rose Birungi, agamba nti kino kiwereddwa mbagirawo era n’alagira Police okugombamu obwala oyo yenna anaasangibwa nga akikola.