Margret Iloku, 63, amaze wiiki 3 kati ngakoola nnimiro ya Nurse ku Ddwaliro lya Princess Diana Health Centre IV erisangibwa mu Kibuga Soroti oluvannyuma lwokulemererwa okusasula ebisale by’eddwaliro oluvannyuma lwamukamwana we okumuloongoosaamu omwana.
Iloku, omutuuze w’e Tukum mu Disitulikiti y’e Soroti, yatuuka ku Ddwaliro nga talina ssente ngasuubira nti obuweereza bwali bwabwereere mu Ddwaliro lya Gavumenti. Iloku agamba nti buli mulwadde agula fayiro ya 3,000/=. Ono agamba nti abasawo bamusaba 20,000/= okugula Jik, ssabbuuni w’obuwunga wamu ne toilet paper nga bino byetaago byabuli buli mukyala abeera azze okuzaalira ku Ddwaliro lino byalina okubeera nabyo.
Iloku agamba nti oluvannyuma lwokulemererwa okufuna emitwalo 2 yatandika okusaba obuyambi kubajanjabi abalala. Wabula oluvannyuma lwokusoberwa, bamutegeeza nga abasawo abamu bwebalina ennimiro zaabwe zasobola okulima nafuna ssente ezo. Ono alina obulumi mu nnyingo oluvannyuma lwokukyuuka okugulu yewaayo alime okusobola okufuna obuyambi mu Ddwaliro.
Wabula oluvannyuma lw’enaku ssatu mukamwana yalemererwa okusindika omwana ngalina kulongosebwa, bwatyo bweyali ategeka omulwadde we okumutwala mu suweta okumulongoosa nebakamutema nti yalina okusooka okuwaayo emitwalo 30 nga tebanamulongoosa. Ono teyalina ssente ekyaleetera abasawo okusooka okugaana okulongoosa omulwadde wabula oluvannyuma yasobola okufuna emitwalo 13 oluvannyuma lwokukuba amasimu agawerako.
Oluvannyuma lwokulongoosa omuntu we Iloku yalina okugula eddagala abasawo lyebamugamba okukendeeza ku bulumi wamu nokunyiga omulwadde. Ebisale bino byagattibwa ku mulimu gwokulima gwalina okukola era nga yakamala enaku 5 nga alima oluvannyuma lwomulwadde we okusiibulwa nti era teyasobola kugenda naye kuba bakyabangibwa.
Ekitundu kino kikiikirirwa Munnakibiina kya National Resistance Movement – NRM Herbert Edmund Ariko.