Omwogezi wa Uganda Police Force CP Fred Enanga; “Ebbaala n’ebifo ebisanyukirwa ebikola okuuyingira mu ssaawa za curfew zaaletedde ababuumira Poliisi mu bitundu eby’enjawulo okukubaganya ebirowoozo ku kirina okukolebwa okukola ebikwekweto. Byonna ebinasangibwa mu bifo bino ebikola bigenda kuboyebwa.”