Ebbeeyi y’amata erinnye mu Ankole

Oluvannyuma lw’ekyeya okwongera okusimba nakakongo mu ggwanga , ebbeeyi y’amata erinnye mu bitundu bya Ankole .

Mu Municipaali y’e Ntungamo, liita y’amata erinnye okuva ku nnusu lunaana (800) okutuuka ku lukumi (1000)  n’olukumi mu ebisatu(1300) , so ate mu Municipaali y’e Mbarara, liita evudde ku  lunaana(800) n’etuuka ku lukumi, abamu bagitunda 1200 ate abalala 1500 . E Ibanda nayo kyekimu kubanga liita etuuse ku 1300.

Sarah Matsiko nga mukozi mu Ddayale ya Inka ategeezezza Simba nti ekyeya ekikutte wansi ne waggulu kyekireetedde abalunzi okulinnyisa ebbeeyi y’amata.

Ate Hilary Twikirize nga mutuuze mu Ggombola y’e Mbare nga y’emu ku zikoseddwa ennyo ekyeyo agamba nti kati abalunzi bayimiriddewo ku mata gokka nga mwebajja ekigulira amagala eddiba n’olwekyo balina okugalinnyisa ebbeeyi!

 

Leave a Reply