Minisita w’ebyamasannyalaze, amafuta, amanda n’eby’obugagga eby’omuttaka, Ying. Irene Muloni avuddeyo nategeeza nti ebbibiro ly’amasannyalaze ery’e Isimba lisuubirwa okuggulwawo ku Lwokuna luno nga March 21, 2019.
Minisita yagambye nti ebbibiro lino bwe linaggulwawo, ebbeeyi y’amasannyalaze esuubirwa okukka ebitundu 17.45 ku buli 100 agootebwa mu maka n’agakozesebwa mu makolero. Kati agabadde ku 243.43, gajja kudda ku 200.93.
Yabadde ayogerera mu lusirika lw’akabondo k’ababaka ba Palamenti aka NRM olubumbujjira mu ttendekekero ly’eggwanga ery’obukulembeze e Kyankwanzi.
Yagasseeko nti ate ebbibiro ly’e Karuma nalyo bwe linaggwa mu June w’omwaka guno, olwo amabibiro gombi ganaaba gongeddeko megawatts 783 olw’okuba Isimba egenda kufulumya 183 ne Karuma 600.
Ying. Muloni yagambye nti Gavumenti egenda kwongerako ebbibiro lya Acwa ll erinaafulumya MW 47, Muzizi 44.7MW, Kikagati 16MW.
Nyagaka 5.5 MW, Nengo Bridge 5MW ne Ndugutu 4.8MW. Mu kiseera kino Uganda ekola amasannyalaze MW 951.
Ebbibiro lya Ismba ly’ebbibiro ery’okuna okuva ku nsibuko y’omugga Kiyira. Ng’erisooka lye lyali Owen Falls kati eryatuumwa Nalubaale eryaggulwawo mu 1954, eriri ku ludda lw’e Njeru mu Kyaggwe, ne kuddako erya Kiyira eriri ku ludda lw’e Jinja mu Busoga. Okwo ate kwe kwadda Bujagali eriri mu Busoga.