Waliwo ebibiina by’obufuzi 7 ebipya ebyesowoddeyo nebisaba okuwandiisibwa Akakiiko akavunaanyizibwa ku byokulonda aketengeredde aka Independent Electoral Commission Uganda (IEC) nga tweteekerateekera akalulu ka bonna 2026 nga bino kuliko; National Foundation Party, National Revival Coalition, National Agrarian Party, People Power Front, Shine Uganda, Uganda Prosperity Party ne National Economic and Redemption Party.
Bino byasindikiddwa okunoonya emikono okwetoloola Eggwanga lyonna. Omwogezi wa IEC Julius Mucunguzi yategeezezza nti bafunye okusaba kwebibiina bino era nebisindikibwa okukungaanya emikono nga etteeka bweriragira.
Mu kaseera kano Uganda erina ebibiina by’ebyobufuzi ebiwandiise 26 nga kitegeeza nti bwebinaaba bimaze okuwadiisibwa byonna olwo Uganda ejjakuba erina ebibiina 33.
Eyavuganyaako ku bwa Pulezidenti John Katumba yawandiisa erinnya ly’ekibiina kye ekya National Revival Coalition (NRC), Omu ku bakulembeze ba People Power Front agamba nti erinnya ly’ekibiina baliwandiisa mu December omwaka oguwedde nga bakyakungaanya mikono. Achilles Spartan Mukagyi omu ku bakuyegera People Power Front agamba nti wakutuddira ku bigenda mu maaso mu kibiina wabula negyebuli eno teri kanyego.
Ye atembeeta Uganda Prosperity Party Judith Grace Amoit yagaanye okubaako kyayogera, Asadullah Ssemindi owa National Economic and Redemption Party agamba nti tebanamaliriza kunoonya mikono nga bwebalagirwa. Patrick Henry Schweri owa Shine Uganda Party agamba nti bakyalina ebbanga erisoba mu myezi 4 okuwaayo emikono nti era bakukikola mu budde.